رفتن به محتوا

ENGERO 1

1
Omugaso gw'engero
1Zino ze ngero za Solomooni
mutabani wa Dawudi,
era kabaka wa Yisirayeli.#Laba ne 1 Bassek 4:32
2Ziyamba abantu okufuna
amagezi n'okuyigirizibwa,
n'okutegeera ebigambo
eby'amakulu amakusike.
3Ziyigiriza amagezi
ag'okukola ebituufu,
n'okusala ensonga mu bwenkanya,
n'okuba abeesimbu.
4Ziyigiriza amagezi
abatalina bumanyirivu,
ziwa abavubuka
okumanya n'okutegeera.
5Omugezi bw'aziwulira,
yeeyongera okuyiga,
era zibuulirira abategeevu,
6ne beeyongera okutegeera
amakulu g'engero agoomunda,
n'ebigambo ebyogerwa abakugu.
Okubuulirira abavubuka
7Mu kutya Mukama,
okumanya mwe kusookera.
naye abasiru banyooma amagezi,
era tebaagala kuyiga.#Laba ne Yob 28:28; Zab 111:10; Nge 9:10
8Mwana wange, wulira
kitaawo by'akuyigiriza,
era tova ku ebyo
nnyoko by'akukuutira.
9Birungiya empisa zo,
ng'ekiremba ky'oku mutwe
n'emikuufu gy'omu bulago,
bwe biwoomera abirina.
10Ababi bwe bakusendasendanga,
mwana wange, tokkirizanga.
11Singa bagamba nti:
“Jjangu tuyite ffenna,
tuteegeyo gwe tunatta,
tugwikirize abataliiko musango,
tubalumbe awatali nsonga,
12tubafuukire amagombe tubamire,
basaanewo ng'abakka mu bunnya.
13Tuneezuulira ebintu
eby'omuwendo ennyo,
tujjuze amayumba gaffe omunyago.
14Jjangu otwegatteko naawe,
tugabanire wamu ebibbe.”
15Mwana wange togezanga n'oyita nabo,
era tobeesemberezanga,
16kubanga tewaliyita bbanga
nga tebannakola bya mbyone.
Tebalirwa kuyiwa musaayi.
17Ekitimba otegera bwereere,
ng'ennyonyi gy'otega ekulaba.
18Naye abantu ng'abo,
bateega bulamu bwabwe bwennyini,
era be bafiira mu nkwe zaabwe.
19Bwe kityo bwe kiba
ku buli afuna eby'obunyazi:
ababifuna, biribatta.
Amagezi gakoowoola abantu
20Amagezi galeekaanira mu nguudo,
gakoowoolera mu bifo ebyalukale.#Laba ne Nge 8:1-3
21Googera n'eddoboozi ery'omwanguka
awayingirirwa mu kibuga,
n'abangi we bakuŋŋaanira.
Ne gagamba nti:
22“Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa
okwagala obutamanya?
Nammwe abanyoomi
mulituusa wa
okusanyukira obunyoomi?
Era nammwe abasiru
mulituusa wa
okukyawa okumanya?
23Musseeyo omwoyo
ku bye mbanenya.
Era nja kubabuulirira,
mbamanyise ekindi ku mwoyo,
mbagabanyize ku bye mmanyi.
24Mbayise ne mugaana okujja.
Mbawenyezzaako n'omukono,
ne wataba afaayo.
25Temuwulirizza bye mbabuulirira,
temwagadde mbanenye n'akatono.
26Kale nange bwe mulikaaba, ndiseka;
ndikudaala nga muli mu ntiisa.
27Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga,
akabi ne kabeetooloola
ng'embuyaga ey'akazimu,
obuyinike n'obulumi ne bibagwira,
28olwo mulimpanjagira,
naye siribaddamu;
mulinnoonya, naye temulinzuula,
29kubanga mwakyawanga okumanya,
era temwalondawo kutya Mukama.
30Temwayagalanga mbabuulirire n'akatono,
temwakkirizanga mbanenyeeko n'akamu.
31Kyemuliva mufuna empeera
egwanira bye mwakola,
mulyoke mwetamwe enkwe zammwe,
32kubanga ekitta ababuyabuya,
kuva ku bituufu;
n'ekizikiriza abasiru,
buteefiirayo.
33Naye buli awuliriza bye ŋŋamba,
anaabanga mirembe,
era anaatereeranga
nga tewali kabi k'atya.”