رفتن به محتوا

YOSWA 7

7
Ekibi kya Akani
1Naye Abayisirayeli ne batakuuma kiragiro kya Mukama eky'obutatwala ku bintu ebyali eby'okuzikiriza. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi era owa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, yatwala ku bintu ebyo, Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli.
2Yoswa n'atuma abantu okuva e Yeriko okugenda e Ayi, ekibuga ekiri ebuvanjuba bwa Beteli, okumpi ne Betaveni, n'abagamba bagende bakette ekitundu ekyo. Ne bagenda ne baketta Ayi. 3Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti: “Tekyetaagisa bantu bonna kugenda, naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu bambukeyo balumbe Ayi. Tosindikayo ggye lyonna kulwana, kubanga abaayo batono.” 4Awo Abayisirayeli ng'enkumi ssatu ne bambukayo, naye ab'e Ayi ne babazzaayo emabega, 5ne babagoba okubaggya ku mulyango gw'ekibuga okubatuusa ku birombe by'amayinja#7:5 …birombe by'amayinja: Mu Lwebureeyi “Shebarim.”, ne babattamu abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga ku kaserengeto. Abayisirayeli ne baggwaamu amaanyi, ne batya. 6Yoswa n'abakulembeze mu Bayisirayeli ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala. Ne beevuunika ku ttaka mu maaso g'Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, okutuusa akawungeezi, nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe. 7Yoswa n'agamba nti: “Kino nga kitalo, ayi Mukama Katonda! Lwaki wasomosa abantu bano Omugga Yorudaani? Wayagala kutuwaayo eri Abaamori batuzingize? Kale nno singa twamatira ne tusigala ku ludda luli olwa Yorudaani! 8Ayi Mukama, nnaayogera ki ng'Abayisirayeli bamaze okudduka abalabe baabwe? 9Kubanga Abakanaani n'abalala bonna abali mu nsi eno, bajja kuwulira kino batuzingize batusaanyeewo. Kale olwo olikola otya okukuuma ekitiibwa kyo?”
10Awo Mukama n'agamba Yoswa nti: “Situka! Lwaki ogudde ku ttaka okwevuunika bw'otyo? 11Abayisirayeli boonoonye. Bamenye endagaano yange gye nabalagira okukuuma. Batutte ku bintu ebiteekwa okuzikirizibwa. Babibbye ne babikukusa, ne babiteeka mu bintu byabwe. 12Ekyo kye kiremesezza Abayisirayeli okwaŋŋanga abalabe baabwe. Badduse abalabe baabwe, kubanga bo bennyini Abayisirayeli bafuuse ba kuzikirizibwa. Sijja kwongera kubeera nammwe, wabula nga muzikirizza ebintu ebyo bye mwagaanibwa okutwala. 13Situka, otukuze abantu. Bagambe beetukuze, okwetegekera olunaku lw'enkya, kubanga nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli ŋŋamba nti: ‘Ggwe Yisirayeli, mu bibyo otereseemu ebintu bye nakulagira okuzikiriza. Tojja kusobola kwaŋŋanga balabe bo nga tonnabyeggyako.’ 14Kale bategeeze nti enkya banaaleetebwa nga bali mu bika byabwe. Ekika kye nnaalondamu, kinaavaayo, ab'ennyumba emu nga baddirirwa ab'ennyumba endala. N'ennyumba gye nnaalondamu, buli muntu anaavaayo ng'addirirwa munne. 15Oyo anaalondebwamu ng'alina ekiteekwa okuzikirizibwa, ajja kwokebwa omuliro, ye n'ebibye byonna by'alina, kubanga amenye endagaano yange, era akoze eky'obuswavu mu Yisirayeli.”
16Enkeera, Yoswa yazuukuka mu makya, n'aleeta Abayisirayeli nga bali mu bika byabwe. Ekika kya Yuda ne kirondebwamu. 17N'aleeta ab'Ekika kya Yuda, n'alondamu ab'ennyumba ya Zeera, ne bavaayo buli muntu kinnoomu, Zabudi n'alondebwamu. 18Oyo n'aleeta ab'omu nnyumba ye kinnoomu. Akani mutabani wa Karumi era muzzukulu wa Zabudi, era muzzukulu wa Zeera ow'omu Kika kya Yuda, n'alondebwamu. 19Yoswa n'agamba Akani nti: “Mwana wange, yogera amazima wano mu maaso ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oyatule. Kaakano mbuulira ky'okoze, tokinkisa.”
20Akani n'addamu nti: “Mazima nayonoonye ne nnyiiza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era kino kye nakoze: 21bwe nalabye mu munyago ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaari, ne kilo nga bbiri eza ffeeza, n'ekitole kya zaabu ekiweza obuzito nga bwa kimu kyakubiri ekya kilo, ne mbiyaayaanira ne mbitwala. Biziikiddwa mu weema yange, nga ffeeza ye ali wansi.”
22Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda bunnambiro mu weema ya Akani, ne basanga nga ddala ebintu gyebiri, nga ffeeza ye ali wansi. 23Ne babiggyayo mu weema, ne babireetera Yoswa n'Abayisirayeli bonna, ne babissa wansi mu maaso ga Mukama. 24Yoswa wamu n'Abayisirayeli bonna, ne bakwata Akani, mutabani wa Zeera, ne ffeeza n'ebyambalo, n'ekitole kya zaabu, ne batabani be ne bawala be, n'endogoyi ze n'endiga ze, ne weema ye, n'ebibye ebirala byonna, ne babatwala mu Kiwonvu Akori#7:24 Akori: Mu Lwebureeyi “Achor” kitegeeza “Mitawaana.”. 25Yoswa n'agamba nti: “Lwaki otuleetedde emitawaana? Kaakano Mukama emitawaana agituuse ku ggwe!” Abantu bonna ne bakuba Akani amayinja, n'afa. Era ne bakuba ab'omu nnyumba ye amayinja, ne bamwokera wamu nabo omuliro era n'ebintu bye byonna. 26Ne bamutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ekyaliwo ne kaakano. Ekiwonvu ekyo kyekyava kiyitibwa Ekiwonvu Akori.
Awo Mukama n'aggweebwako obusungu bwe obukambwe.