رفتن به محتوا

HOSEYA 1

1
1Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Hoseya, mutabani wa Beeri, mu mirembe gya Wuzziya, n'egya Yotamu, n'egya Ahazi ne Heezeekiya, bassekabaka ba Buyudaaya, ne mu mirembe gya Yerobowaamu, mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Yisirayeli.#Laba ne 2 Bassek 14:23-29; 15:1-7,32-38; 16:1-20; 18:1–20:21 2 Byom 26:1–27:8; 28:1–32:33
Abaana ba Hoseya ne mukazi we
2Mukama bwe yatandika okwogera n'Abayisirayeli ng'ayita mu Hoseya, yagamba Hoseya nti: “Genda owase omukazi atali mwesigwa, omuzaalemu abaana, kubanga abantu bange banvuddeko, nze Mukama, tebakyali beesigwa.”
3Awo Hoseya n'agenda, n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri, muwala wa Dibulayimu. Gomeri n'aba olubuto, n'azaalira Hoseya omwana ow'obulenzi. 4Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya Yezireeli, kubanga ebulayo ekiseera kitono, mbonereze ab'ennyumba ya Yeehu olw'abantu Yeehu be yattira e Yezireeli. Era ŋŋenda kukomya obwakabaka bwa Yisirayeli.#Laba ne 2 Bassek 10:11 5Era mu kiseera ekyo, ndisaanyaawo ebyokulwanyisa bya Yisirayeli mu kiwonvu kya Yezireeli.”
6Gomeri era n'aba olubuto, n'azaala omwana wa buwala, Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Takwatirwakisa’, kubanga Abayisirayeli sikyabakwatirwa kisa, wadde okubasonyiwa. 7Naye ndikwatirwa ekisa ab'omu Buyudaaya. Nze Mukama Katonda waabwe, ndibawonya akabi, naye nga tewali kukozesa mutego gwa busaale na kitala, wadde embalaasi n'abazeebagadde; tewaliba lutalo.”
8Gomeri bwe yamala okuggya Takwatirwakisa ku mabeere, era n'aba olubuto nate. N'azaala omwana wa bulenzi. 9Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Sibantubange’, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
Abayisirayeli balizzibwawo
10Abayisirayeli baliba bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, ogutayinza kupimibwa, wadde okubalibwa. Kaakano Katonda abagamba nti: “Temuli bantu bange.” Naye olunaku lulituuka n'abagamba nti: “Muli baana ba Katonda Nnannyinibulamu.”#Laba ne Bar 9:26 11Abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu, era balyerondera omukulembeze omu. Baliddamu okukulaakulana n'okuba obulungi mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezireeli luliba lukulu.