رفتن به محتوا

HABAKUUKU 1

1
1Buno bwe bubaka
omulanzi Habakuuku
bwe yafuna mu kulabikirwa.
Habakuuku yeemulugunya.
2Ayi Mukama, ndituusa wa
okukuyita nga towulira?
Nkukaabirira nti:
“Tulokole otuwonye
obukambwe bw'abantu!”
Wabula ggwe n'osirika!
3Ondekera ki okulaba
ebitali bya bwenkanya,
n'otunula obutunuzi
ng'ebikyamu bikolebwa?
Kubanga obunyazi n'obukambwe
bye ndaba buli we ntunula.
4Amateeka kyegavudde gaddirira,
ne wataba kugoba nsonga,
kubanga ababi be bakajjala
kati ku batuukirivu!
Kwe kulaba n'amazima
nga ddala gasuuliddwa!
Mukama ayanukula
5Mukama n'agamba abantu be nti:
“Mutunuleeko mu mawanga mulabe,
muneewuunya ne musamaalirira!
Kubanga mu mirembe gyammwe gino
nja kubaako kye nkolawo,
kye mutayinza kukkiriza
singa bababuulidde.#Laba ne Bik 13:41
6Kale mulabe,
nkulaakulanya Abakaludaaya,
abantu abakambwe abo
abatatuula kukkalira:
abagenda batalaaga ensi
okunyaga ebintu by'abalala.#Laba ne 2 Bassek 24:2
7Baakitiibwa ba ntiisa,
beemala era beeramula!
8“Embalaasi zaabwe
zidduka okusinga engo!
Mu bukambwe
zikirako emisege egy'akawungeezi.
Abeebagazi baazo abeeyagazi
bakka ng'empungu
eyanguyira ky'eneerya!
9Bonna kye bajjirira,
kukola bya bukambwe.
We baba basembedde
buli muntu ajjula entiisa!
Abanyage be bakuŋŋaanya,
bayitirira obungi
ng'obuweke bw'omusenyu!
10Banyooma bakabaka,
ne basekerera abakungu.
Tewali kigo kye batya:
bakitindirako ettaka
olwo ne bakiwamba!
11Ne bafuumuuka ng'embuyaga
ne babulawo!
Bantu boonoonyi,
amaanyi gaabwe ye Lubaale waabwe!”
Habakuuku addamu okwemulugunya
12Ayi Mukama Katonda wange,
eyabeerawo okuva edda n'edda,
oli mutuukirivu,
era wa mirembe na mirembe.
Ayi Mukama Katonda wange,
walonda Abakaludaaya
n'obafuula ba maanyi,
balyoke batubonereze.
13Oli mutuukirivu nnyo
atasaanye kutunuulira bibi,
era atayinza kugumiikiriza
bakola bikyamu.
Kale lwaki osirika
ng'ababi bamalawo abo
ababasinga okuba abatuukirivu?
14Abantu obayisa nga byannyanja
oba ng'ebyewalula,
ebitalina abirabirira?
15Abakaludaaya abo
bakwata abantu,
nga bakozesa obutimba n'amalobo,
ng'abakwata ebyennyanja.
Babawalulira mu butimba,
ne basanyuka nga bajaguza
olw'abo be bakwasizza!
16Kyebava bawaayo ebitambiro
eri obutimba bwabwe obwo,
ne babwotereza obubaane,
kubanga bubawa omugabo
ogusinga obusava,
ne balya bye beeroboza.
17Banaakozesanga ebissi byabwe
bazikirize amawanga olutata
awatali kusaasira?