رفتن به محتوا

ESITEERI 10

10
Obukulu bwa Ahaswero ne Moruddekaayi
1Awo Kabaka Ahaswero n'asalira abantu ab'oku lukalu n'ab'omu bizinga eby'omu nnyanja omusolo. 2Ebyo byonna bye yakola ebiraga obuyinza bwe n'amaanyi ge, era n'ebyo ebiraga nga bwe yatuusa Moruddekaayi ku bukulu, biwandiikiddwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka b'e Perusiya n'e Mediya. 3Moruddekaayi Omuyudaaya, ye yaddiriranga Kabaka Ahaswero mu kitiibwa, era yali mukulu mu Bayudaaya. Bayudaaya banne baamwagalanga, kubanga yakoleranga abantu be ebirungi, era ng'ayagaliza ab'eggwanga lye emirembe.