ESITEERI EKY'OLUYONAANI 7
7
Hamani awanikibwa ku kalabba ke yategekera Moruddekaayi
1Awo kabaka ne Hamani ne bagenda okulya ekijjulo ewa Nnaabagereka 2omulundi ogwokubiri. Bwe baali banywa, kabaka n'addamu okubuuza Esiteeri nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'oyagala? Kintegeeze okifune, ne bwe kinaabeera kitundu kimu kyakubiri eky'obwakabaka bwange.”
3Nnaabagereka Esiteeri n'agamba nti: “Oba ddala Ssaabasajja osiimye okumpa kye nsaba, nkusaba onzikirize mbe mulamu, era okkirize n'ab'eggwanga lyange babe balamu. 4Nze n'ab'eggwanga lyange twaweebwayo dda okuttibwa, tusalibweko obulago, tusaanyizibwewo. Singa kubadde kutundibwa ne tufuuka abaddu n'abazaana, nandikisirikidde, kubanga okubonaabona kwaffe kwandibadde kugumiikirizika. Naye kaakano, obukambwe bw'omulabe waffe bujja kufiiriza ggwe wennyini, Ssaabasajja.”
5Kabaka Ahaswero kwe kubuuza Esiteeri nti: “Oyo aguma okukola ekyo ye ani?” 6Esiteeri n'addamu nti: “Omulabe waffe ye muzigu oyo Hamani.”
Hamani bwe yawulira ebyo, n'akwatibwa ensisi mu maaso ga kabaka n'aga Nnaabagereka. 7Kabaka n'asituka n'ava ku kijjulo, ng'obusungu bumuli bubi. N'ayingira mu nnimiro ez'omu lubiri. Hamani n'amanya nti ali mu kabi. Kyeyava asigalawo n'asaba Esiteeri awonye obulamu bwe.
8Kabaka bwe yava mu nnimiro n'ayingira mu kisenge kye baalimu ku kijjulo, n'asanga Hamani ng'avuunamye ku katanda Esiteeri ke yali agalamiddeko. Kabaka n'aleekaana nti: “Ayagala na kukwata Nnaabagereka wano mu maaso gange era mu lubiri lwange?”
Kabaka yali tannaba na kumaliriza kwogera ebyo, ne basiba Hamani ku maaso. 9Omu ku balaawe ayitibwa Arabona, n'agamba nti: “Hamani yakoze ewuwe akalabba akaweza mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ak'okuwanikako Moruddekaayi eyawonya kabaka olukwe olw'okumutta.”
Kabaka n'alagira nti: “Mukawanikeko Hamani yennyini.” 10Bw'atyo Hamani n'awanikibwa ku kalabba ke yali ategese okuwanikako Moruddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.