ESITEERI EKY'OLUYONAANI 4
4
1Moruddekaayi bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ebikutiya, ne yeesiiga omutwe gwe gwonna evvu, n'ayita mu kibuga ng'akuba ebiwoobe eby'amaanyi ng'agamba nti: “Bagenda okuzikiriza eggwanga eritalina musango!” 2Bwe yatuuka ku mulyango gw'olubiri, n'ayimirira, kyokka n'atayingira, kubanga omuntu ayambadde ebikutiya teyakkirizibwanga kuyingira mu lubiri. 3Mu bitundu by'amatwale byonna, etteeka lya kabaka n'ekiragiro kye gye byatuuka, Abayudaaya ne beesaasaabaga nnyo, ne bakaaba amaziga, ne bakuba ebiwoobe, era ne bambala ebikutiya era ne beesiiga evvu.
4Esiteeri ne yennyamira nnyo, abaweereza be abakazi n'abalaawe bwe baamubuulira Moruddekaayi bye yali akola. N'amuweereza engoye ez'okwambala mu kifo eky'ebikutiya, naye Moruddekaayi n'atazikkiriza. 5Awo Esiteeri n'ayita omu ku balaawe ba kabaka erinnya lye Hataki eyali ateekeddwawo okumuweereza, n'amutuma agende amanye byonna ebiriwo. 6Hataki n'agenda eri Moruddekaayi mu makkati g'ekibuga ku mulyango gw'olubiri. 7Moruddekaayi n'amutegeeza byonna ebyali bimutuuseeko, era nga Hamani bwe yali asuubizza okuleeta mu ggwanika ly'obwakabaka kilo emitwalo amakumi asatu mu ena egya ffeeza, singa Abayudaaya bonna bazikirizibwa. 8Moruddekaayi n'awa Hataki ebyali mu kirangiriro ekyali kifulumiziddwa mu Susa, ekiragira okusaanyaawo Abayudaaya. N'amugamba abitwalire Esiteeri era abimunnyonnyole, era amukuutire okugenda eri kabaka amwegayirire, era amusabe okukwatirwa abantu be Abayudaaya ekisa. N'agamba nti: “Gamba Esiteeri ajjukire ennaku ezo ze yabeereramu omuntu owaabulijjo eyakulira mu mikono gyange. Kaakano nga Hamani Katikkiro wa kabaka bw'atwogeddeko obubi n'asaba tuttibwe, Esiteeri yeegayirire Katonda era atwogereko bulungi ewa kabaka, atuwonye okuttibwa.”
9Awo Hataki n'agenda n'abuulira Esiteeri, Moruddekaayi by'agambye. 10Ne Esiteeri n'awa Hataki obubaka obw'okuddiza Moruddekaayi nti: 11“Singa wabaawo omuntu, k'abe musajja oba mukazi, ayingira munda mu luggya, n'alaba kabaka nga tayitiddwa, omuntu oyo ateekwa kuttibwa. Etteeka lino buli omu alimanyi, okuva ku baweereza ba kabaka, okutuukira ddala ku bantu bonna ab'omu bitundu kabaka by'afuga. Wabula singa kabaka agololera omuntu omuggo gwe ogwa zaabu, olwo omuntu oyo tattibwa. Naye mmaze ennaku amakumi asatu nga siyitibwanga kugenda eri kabaka.”
12Awo ne babuulira Moruddekaayi Esiteeri by'agambye. 13Moruddekaayi n'abagamba okuddamu Esiteeri nti: “Tolowooza nti ggwe onooba obulungi mu Bayudaaya bonna abali mu bwakabaka. 14Bw'onoosirika mu kiseera nga kino, Abayudaaya bajja kufuna obuyambi obw'okubawonya nga buva awalala, naye ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, muzikirire. Era ani amanyi? Wandiba nga wafuulibwa Nnaabagereka lwa biseera ebiri nga bino!”
15Esiteeri n'addamu Moruddekaayi nti: 16“Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susa, musiibe ku lwange. Temulya wadde okubaako kye munywa emisana n'ekiro, okumala ennaku ssatu. Nze n'abaweereza bange abakazi, tujja kukola ekintu kye kimu. Oluvannyuma nja kugenda eri kabaka newaakubadde nga tekikkirizibwa. Oba kufa, kale nnaafa!”
17Moruddekaayi n'agenda n'akola nga Esiteeri bwe yamulagira.#
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.