رفتن به محتوا

ESITEERI EKY'OLUYONAANI 2

2
Esiteeri afuuka Nnaabagereka
1Ebyo bwe byaggwa, obusungu bwa Kabaka Ahaswero ne bukkakkana. N'alowooza ku Vasuti ne ku kye yakola, era n'engeri gye yasalirwamu omusango. 2Awo abaweereza be ne bamugamba nti: “Ka bakunoonyeze abawala embeerera era abalungi. 3Tuma mu buli kitundu mu bwakabaka bwo, bakulonderemu abawala abato abalungi, babaleete mu nnyumba y'abakazi ey'omu kibuga ekikulu Susa, babakwase Hegewo omulaawe wo alabirira abakazi bo. Baweebwe byonna bye beetaaga okwenyiriza. 4Mu abo bonna, ggwe kabaka gw'osinga okusiima gw'oba ofuula mukazi wo, mu kifo kya Vasuti.” Ekyo kabaka n'akisiima, era n'alagira bakole bwe batyo.
5Mu Kibuga Susa mwalimu Omuyudaaya ayitibwa Moruddekaayi, mutabani wa Yayiro, Yayiro mutabani wa Simeeyi, Simeeyi mutabani wa Kisi ow'omu Kika kya Benyamiini. 6#Laba ne 2 Bassek 24:10-16; 2 Byom 36:10Yali omu ku basibe Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooniya be yaggya e Yerusaalemu, wamu ne Yekoniya, kabaka wa Buyudaaya. 7Moruddekaayi oyo ye yali omukuza wa Esiteeri, muwala wa kitaawe omuto Amminadabu. Esiteeri yali muwala mulungi nnyo era mubalagavu mu ndabika ye. Bwe yafiirwako kitaawe ne nnyina, Moruddekaayi n'amwola ng'omwana we.
8Ekiragiro kya kabaka bwe kyalangirirwa, abawala bangi ne baleetebwa mu Kibuga Susa, ne bakwasibwa Hegewo omulaawe. Ne Esiteeri yali omu ku abo abaaleetebwa mu lubiri, n'alabirirwa Hegewo omukulu w'ekifo omukuumirwa bakazi ba kabaka. 9Esiteeri yasanyusa nnyo Hegewo, bw'atyo Hegewo n'amusiima. Teyalwa, n'amuwa byonna ebyetaagibwa okukozesa mu kwenyiriza. N'amuteekako abazaana musanvu ab'okumuweerezanga, abasingira ddala obulungi mu lubiri lwa kabaka. Era n'amuteeka, wamu n'abazaana be, mu kifo ekisinga obulungi mu nnyumba y'abakazi.
10Esiteeri yali tayogedde ggwanga lye na maka mw'ava, kubanga Moruddekaayi yali amugaanidde ddala okubyogerako. 11Buli lunaku Moruddekaayi yatambulatambulanga mu maaso g'oluggya lw'ennyumba y'abakazi ba kabaka, amanye Esiteeri nga bw'ali era ne bw'ayisibwa.
12Oluwalo olwa buli muwala olw'okuyingira eri Kabaka Ahaswero lwatuukanga nga wayiseewo emyezi kkumi n'ebiri, ng'etteeka ery'okunyiriza abawala abo bwe lyali. Baamalanga emyezi mukaaga nga basiigibwa omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra. Emyezi emirala omukaaga baasiigibwanga omuzigo ogw'ekika ekirala, ogwesiigibwa abakazi okwenyiriza. 13Omuwala bwe yabanga ava mu nnyumba y'abakazi okugenda eri kabaka, yaweebwanga buli kyakwenyiriza ky'ayagala, n'ayingira nakyo mu lubiri. 14Yayingirangayo akawungeezi, n'avaayo ku makya, n'atwalibwa mu nnyumba y'abakazi endala, n'alabirirwa Saasugazi, omulaawe alabirira abakazi ba kabaka. Era omuwala oyo teyaddangayo eri kabaka, okuggyako nga kabaka ye alagidde, ng'amuyita erinnya lye.
15Awo Esiteeri muwala wa Amminadabu, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, n'atuusa oluwalo olulwe olw'okugenda eri kabaka. Ebyokwenyiriza, ye talina kirala kyonna kye yasaba okuggyako ebyo Hegewo omulaawe, omukuumi w'abakazi ba kabaka, bye yamuwa okukozesa. Esiteeri yali mulungi mubalagavu, ng'asiimibwa buli amulabako. 16Awo n'atwalibwa mu lubiri eri Kabaka Ahaswero, mu mwezi ogw'ekkumi oguyitibwa Tebeti, mu mwaka gwa Ahaswero ogw'ekkumi ku bwa kabaka. 17Kabaka n'ayagala Esiteeri okukira abakazi abalala bonna, n'amutikkira ku mutwe engule ey'obwannaabagereka, n'adda mu kifo kya Vasuti.
18Awo kabaka n'akola embaga makeke ng'awasizza Esiteeri, n'agabula abakungu be n'abaami be. Obwakabaka bwe bwonna n'abuwa olunaku olw'okuwummula, era n'agaba ebirabo bingi, nga bakabaka bwe bakola.
Moruddekaayi awonya obulamu bwa kabaka
19Mu budde obwo obw'okunoonyereza abawala n'okubakuŋŋaanya, Moruddekaayi yali aweereddwa ekifo ekikulu mu lubiri lwa kabaka. 20Esiteeri yali tannayogera ggwanga lye wadde amaka mw'ava. Moruddekaayi yali amugaanyi okubaako gw'abuulirako, era Esiteeri n'amuwulira mu kino nga bwe yamuwuliranga ng'akyamulabirira mu buto.
21Moruddekaayi bwe yali mu kifo ekikulu mu lubiri lwa kabaka, Bigitaana ne Teresi, bombi abalaawe abakuumi ba kabaka, ne banyiiga, ne bateesa okutta kabaka. 22Moruddekaayi bwe yakimanya, n'abuulirako Esiteeri, ye n'akibuulira kabaka. 23Bwe baabuuliriza, ne basanga nga bye byo, abasajja abo bombi ne bawanikibwa ku kalabba. Kabaka n'alagira ekyo kiwandiikirwe mu maaso ge, mu kitabo ky'ebyafaayo.