DANIYELI 9
9
Daniyeli asabira ab'eggwanga lye
1Gwali mwaka ogusooka nga Dariyo, mutabani wa Ahaswero, ye kabaka w'Abakaludaaya. 2Mu mwaka ogwo ogusooka nga Dariyo ye kabaka, nze Daniyeli nali neetegereza ebitabo, ne ndaba ng'emyaka giriba nsanvu, ekibuga Yerusaalemu gye kirimala nga matongo, nga Mukama bwe yamanyisa Yeremiya Omulanzi.#Laba ne Yer 25:11; 29:10
3Awo ne nkyukira eri Mukama Katonda, ne mmusaba nga mmwegayirira, nga nsiiba, nga nnyambala ebikutiya, era nga ntuula mu vvu. 4Ne neegayirira Mukama Katonda wange, ne njatula nti: “Ayi Mukama Katonda, Ggwe Omukulu era ow'entiisa, Ggwe akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'okwatirwa ekisa abo abakwagala ne bakola by'olagira, 5twasobya, twayonoona, era twakola ebibi, twajeema, era twava ku by'otulagira, ne ku by'otukuutira. 6Tetwawuliriza baweereza bo abalanzi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abakulembeze baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna. 7Ggwe, ayi Mukama, bulijjo okola bituufu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri ku ffe ffenna: abantu abali mu Buyudaaya, n'abatuuze b'omu Yerusaalemu, n'Abayisirayeli bonna abali okumpi, n'abo abali ewala mu nsi zonna gye wabasaasaanya olw'obutaba beesigwa gy'oli. 8Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n'abakulembeze baffe abalala, ne bajjajjaffe, tuswadde, kubanga twakola ebibi ne tukunyiiza. 9Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe oli wa kisa era osonyiwa, wadde nga ffe twakujeemera. 10Tetwawuliriza by'otugamba, ayi Mukama Katonda waffe, bwe watugamba okukwatanga amateeka go ge watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi. 11Eggwanga lyonna erya Yisirayeli lyamenya amateeka go, ne liwaba, ne ligaana okuwuliriza by'ogamba. Twayonoona ne tukunyiiza, kyewava otutuusaako, ebikolimo bye weerayirira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuweereza wo, ayi Katonda, 12n'otuukiriza bye wagamba okukola ku ffe, ne ku bafuzi baffe. N'obonereza Yerusaalemu, okusinga ebibuga ebirala byonna ku nsi, 13ne tuweebwa ebibonerezo byonna ebyogerwako mu mateeka ga Musa. Naye ne kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tetunnafaayo kukusanyusa nga tuva mu bibi byaffe, ne tussaayo omwoyo ku mazima go. 14Kyewava otunuulira ebibi byaffe n'otubonereza, ayi Mukama Katonda waffe, kubanga bulijjo okola bituufu, naye ffe tetwawuliriza ky'otugamba.
15“Ayi Mukama Katonda waffe, Ggwe eyalaga obuyinza bwo, bwe waggya abantu bo mu nsi y'e Misiri, era nga ne leero obuyinza bwo bukyajjukirwa, twayonoona, twakola ebitasaana. 16Nga bw'oli ow'ekisa ekingi, nkwegayiridde, oleme kwongera kusunguwalira na kukambuwalira Yerusaalemu, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw'okwonoona kwaffe, n'olw'ebibi bya bajjajjaffe, abantu bonna mu nsi ezitwetoolodde, banyooma Yerusaalemu wamu n'abantu bo. 17Kale kaakano, ayi Katonda waffe, wulira okusaba kwange, n'okwegayirira kwange nze omuweereza wo, kwatirwa ekisa Essinzizo lyo erirekeddwa awo ettayo, olage ekitiibwa kyo. 18Ayi Katonda wange, tega okutu kwo owulire, zibula amaaso go olabe ebyaffe, ebyalekebwa awo ettayo, n'ekibuga ekyo ekiyitibwa ekikyo. Tukwegayiridde si lwa kuba nga twakola ebituufu, naye kubanga Ggwe oli wa kisa. 19Ayi Mukama, wulira! Ayi Mukama, sonyiwa! Ayi Mukama, ssaayo omwoyo, okolerewo! Tolwa, olage ekitiibwa kyo. Ekibuga kino kikyo, era n'abantu bano babo.”
Malayika Gabulyeli annyonnyola amakulu g'ebyalangibwa
20Ne nnyongera okwatula ebibi byange, n'eby'abantu bange Abayisirayeli, n'okusaba era n'okwegayirira Mukama, Katonda wange, nga mmusaba azzeewo ekitiibwa ky'Olusozi lwe Olutukuvu. 21Bwe nali nga nkyasaba, Gabulyeli gwe nalaba mu kulabikirwa okwasooka, n'abuusibwa mangu n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ekitambiro eky'akawungeezi.#Laba ne Luk 1:19,26 22N'ayogera nange, n'annyinyonnyola bw'ati nti: “Ggwe Daniyeli, kaakano nzize okukutangaaza, otegeere. 23Bwe wali waakatandika okwegayirira, n'oyanukulwa. Kaakano nzize okukumanyisa kye wayanukulwa, kubanga oli mwagalwa nnyo. Kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere amakulu g'ebyo bye walaba mu kulabikirwa.
24“Wiiki nsanvu, lye bbanga eriteereddwawo abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okukola ebibi, okusaba ekisonyiwo, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. Olwo ebyalagibwa mu kulabikirwa, n'ebyalangibwa, biryoke bituukirire, n'Ekifo Ekitukuvu#9:24 Ekifo Ekitukuvu ennyo: Oba, “Alutaari”, oba “Omutukuvu ennyo.” ennyo kiwongebwe, nga kifukibwako omuzigo. 25Kale manya era otegeere ng'okuva ku kiseera ekiragiro lwe kiriweebwa okuzimba Yerusaalemu obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo omulangira alifukibwako omuzigo, waliyitawo wiiki musanvu, ne wiiki nkaaga mu bbiri. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ekyo kiriba kiseera kya kubonaabona. 26Wiiki enkaaga mu ebbiri bwe ziriggwaako, Eyafukibwako Omuzigo n'alyoka attibwa nga talina musango. Ekibuga n'Ekifo Ekitukuvu, birizikirizibwa eggye ly'omufuzi ow'amaanyi, eririjja ne lirumba. Enkomerero y'omufuzi oyo, erijja ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gujja, era walibaawo okulwanagana, okutuusiza ddala ku nkomerero. Okuzikiriza kwalagirwa. 27Omufuzi oyo alikola n'abantu bangi endagaano ennywevu okumala wiiki emu. Mu makkati ga wiiki eyo, aliwera ebitambiro n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, omuzikiriza alissaako ebyenyinyalwa, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erituuka.”#Laba ne Dan 11:31; 12:11; Mat 24:15; Mak 13:14
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.