2 PEETERO 3
3
Okudda kwa Mukama
1Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa yange eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza okuba n'endowooza eteriimu bukuusa, 2mulyoke mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abalanzi abatukuvu, n'ebiragiro bya Mukama era Omulokozi, ebyabaweebwa abatume bammwe. 3Okusookera ddala, mumanye kino nti mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abantu abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Abantu abo balibasekerera mmwe,#Laba ne Yuda 18 4nga bagamba nti: “Eyasuubiza nti alijja aluwa? Kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna bikyali nga bwe byali okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi!” 5Kino bakyeyisaako bweyisa. Bamanyi nti edda Katonda yayogera bwogezi, eggulu n'ensi ne bitondebwa, ensi n'ekolebwa ng'eggyibwa mu mazzi, era n'eteekebwa wakati waago.#Laba ne Nta 1:6-9 6Amazzi ago era ge gaasaanyaawo ensi ey'edda, n'ezikirira.#Laba ne Nta 7:11 7Ekigambo kya Katonda ekyo kyennyini, kye kibeesaawo eggulu n'ensi ebiriwo kaakano, ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okusalirako omusango, n'okuzikirira kw'abantu abatassaamu Katonda kitiibwa.
8Abaagalwa, kino temukyerabiranga nti eri Mukama, olunaku olumu kye kimu n'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi kye kimu n'olunaku olumu.#Laba ne Zab 90:4 9Mukama talwawo kutuukiriza kye yasuubiza ng'abamu bwe balowooza, kyokka abagumiikiriza mmwe, nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye. 10Naye Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lulijja ng'omubbi. Ku olwo eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro, era ensi n'ebigikolerwako birisirikka.#Laba ne Mat 24:43; Luk 12:39; 1 Bat 5:2; Kub 16:15
11Oba ng'ebintu ebyo byonna bigenda kuzikirizibwa bwe bityo, mugwanidde kubeera mutya? Mu bulamu bwammwe mugwanidde kuba batukuvu era abassaamu Katonda ekitiibwa, 12nga mulindirira era nga mwegomba nnyo Olunaku Katonda lw'alisalirako omusango lutuuke. Ku lunaku olwo, eggulu lirikoleera omuliro ne liggya, n'ebiririko birisaanuusibwa omuliro. 13Kyokka nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira eggulu eriggya n'ensi empya, omuli obutuukirivu.#Laba ne Yis 65:17; 66:22; Kub 21:1 14Kale abaagalwa, nga bwe mulindirira ebyo, mufube, Mukama abasange nga muli mirembe mu maaso ge, nga temuliiko bbala wadde akamogo. 15Mumanye nti okugumiikiriza kwa Mukama waffe, gwe mukisa gwammwe ogw'okulokolebwa. Ne muganda waffe omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. 16Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu zo mulimu ebimu ebizibu okutegeera, abantu abatamanyi n'abatali banywevu, bye bakyamya, nga bwe bakola ne ku byawandiikibwa ebirala, ne kibaviiramu okuzikirira.
17Kale nno mmwe abaagalwa, nga ebyo bwe mubitegedde nga bukyali, mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa bukyamu bw'ababi, ne muva we munyweredde. 18Naye mukule nga muyambibwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, nga mweyongera okumumanya. Yennyini aweebwenga ekitiibwa, kaakano n'emirembe gyonna. Amiina.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.