2 EBYOMUMIREMBE 7
7
Okutukuza Essinzizo
(Laba ne 1 Bassek 8:62-66)
1Awo Solomooni bwe yamaliriza okusinza, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ebiweebwayo ebyokebwa, era n'ebitambiro. N'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza Essinzizo.#Laba ne Leev 9:23-24 2Bakabona ne batayinza kuyingira mu Ssinzizo, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjuddemu. 3Abayisirayeli bonna bwe baalaba omuliro, n'ekitiibwa kya Mukama nga bikka ku Ssinzizo, ne bavuunama ku mayinja amaaliire nga basinza Katonda, era nga bamwebaza kubanga mulungi, n'ekisa kye kya mirembe gyonna.#Laba ne 1 Byom 16:34; 2 Byom 5:13; Ezer 3:11; Zab 100:5 106:1; 107:1; 118:1; 136:1; Yer 33:11 4Awo Kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ebitambiro eri Mukama. 5Kabaka Solomooni n'awaayo ebitambiro bya nte emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo Essinzizo eri Mukama. 6Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe. N'Abaleevi ne bayimirira nga babatunuulidde, nga balina ebivuga Dawudi bye yakola okutendereza Mukama, ne babikozesa mu luyimba Dawudi lwe yabayigiriza, olw'okwebaza Mukama, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. Bakabona ne bafuuwa amakondeere nga n'Abayisirayeli bonna bayimiridde.
7Solomooni n'atukuza oluggya olwawakati olwali mu maaso g'Essinzizo, n'aweerayo mu luggya olwo ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'amasavu agaava ku biweebwayo olw'okutabagana. Yakola bw'atyo, kubanga alutaari ey'ekikomo gye yakola, yali nfunda nnyo, ng'ebiweebwayo ebyo byonna tebiyinza kugyako.
8Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga, gye baamalako ennaku musanvu. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awali omwagaanya oguyingirirwamu ogw'e Hamati, n'eri ku Kagga ak'ensalo ne Misiri. 9Baamala ennaku musanvu ez'okuwaayo alutaari eri Mukama, n'ennaku endala musanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omunaana ne baba n'olukuŋŋaana olukulu olwa bonna. 10Ku lunaku olwaddako, olw'amakumi abiri mu essatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Solomooni n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Baddayo ewaabwe nga basanyufu era nga bamativu mu mitima olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi ne Solomooni, n'abantu be Abayisirayeli.
Katonda addamu okulabikira Solomooni
(Laba ne 1 Bassek 9:1-9)
11Awo Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era n'amaliriza bulungi okuteekamu byonna bye yalowooza okuteeka mu Ssinzizo, n'okuteeka mu lubiri lwe, 12Mukama n'amulabikira ekiro. N'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, era nzikirizza Essinzizo lino libe ekifo omunampeerwanga ebitambiro. 13Bwe nnaasibanga eggulu enkuba n'etetonnya, oba bwe nnaasindikanga enzige okulya ebirime, oba bwe nnaasindikanga kawumpuli mu bantu bange, 14abantu bange abo abansinza bwe baneetoowazanga ne beegayirira, ne bakyukira gye ndi, ne bava mu mpisa zaabwe embi, mu ggulu gye mbeera nnaawuliranga, ne mbasonyiwa ebibi byabwe, ne mponya ensi yaabwe. 15Nneekalirizanga amaaso era nnaateganga amatu ne mpulira byonna bye bansaba nga bali mu kifo kino. 16Kubanga kaakano Essinzizo lino nditukuzizza, bansinzizengamu ennaku zonna. Era nnaalikuumanga ne ndirabirira ebbanga lyonna. 17Naawe bw'onompeerezanga n'obwesigwa nga kitaawo Dawudi bwe yakola, n'ogondera amateeka gange, era n'otuukiriza byonna bye nnaakulagiranga, 18ndinyweza obwakabaka bwo nga bwe nalagaanya kitaawo Dawudi, nga mmugamba nti mu zzadde lye taabulwengamu afuga Yisirayeli.#Laba ne 1 Bassek 2:4 19Naye bwe mulinvaako, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale, era ne mubasinza, 20olwo ndibaggya mu nsi yange gye nabawa mmwe, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Ndirifuula eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
21“Essinzizo lino kaakano lyakitiibwa nnyo, naye buli anaayitangawo, aneewuunyanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’ 22Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi ye Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza, era ne babaweereza, Mukama kyeyava abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.