1 SAMWELI 3
3
Mukama alabikira Samweli
1Awo omwana Samweli n'aweerezanga Mukama ng'alabirirwa Eli. Mu nnaku ezo, Mukama yali tatera kwogera na bantu wadde okubalabikira.
2Awo olwatuuka, mu kiro ekimu, Eli eyali takyalaba bulungi olw'amaaso ge agaali gatandise okuyimbaala, yali agalamidde mu kifo kye, 3ng'ettaala ya Mukama tennazikira. Ne Samweli yali yeebase mu Ssinzizo lya Mukama, omwali Essanduuko ya Katonda. 4Awo Mukama n'ayita Samweli. Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.” 5Awo n'adduka n'agenda awali Eli, n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Eli n'agamba nti: “Sikuyise, ddayo weebake.” Samweli n'addayo ne yeebaka.
6Mukama n'addamu okuyita Samweli. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Kyokka Eli n'addamu nti: “Mwana wange, sikuyise.” 7Samweli yali tannaba kumanya Mukama, era Mukama yali tayogerangako na Samweli.
8Mukama n'ayita Samweli omulundi ogwokusatu. Samweli n'agolokoka n'agenda awali Eli n'agamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n'ategeera nti Mukama ye ayita omwana. 9Eli kyeyava agamba Samweli nti: “Genda weebake. Bw'anaakuyita, onoogamba nti: ‘Yogera Mukama wange, omuddu wo awulira.’ ” Awo Samweli n'addayo ne yeebaka mu kifo kye.
10Awo Mukama n'ajja n'ayimirira awo, n'ayita nga mu kusooka nti: “Samweli, Samweli!”
Samweli n'addamu nti: “Yogera, omuddu wo awulira.”
11Mukama n'agamba Samweli nti: “Ŋŋenda okukola ekintu mu Yisirayeli, ekiriwaawaaza amatu ga buli muntu alikiwulira. 12Ku lunaku olwo ndituukiriza byonna bye nayogera ku b'ennyumba ya Eli, okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo, 13kubanga nabuulira Eli nti ŋŋenda kuwa ab'ennyumba ye ekibonerezo ekyolubeerera olw'ekibi kye yamanya, olwa batabani be abeeyonoona n'atabaziyiza. 14Kyenvudde ndayirira ab'ennyumba ya Eli nti emirembe gyonna, ekibi kyabwe tekigenda kuggyibwawo na kiweebwayo wadde ekitambiro.”
15Samweli ne yeebaka okutuusa enkeera. Bwe yazuukuka n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. N'atya okubuulira Eli ebyo bye yayolesebwa. 16Awo Eli n'ayita Samweli n'amugamba nti: “Samweli, mwana wange!” Samweli n'ayitaba nti: “Wangi ssebo.” 17Eli n'amubuuza nti: “Kiki Mukama kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoobaako ky'onkisa ku ebyo byonna by'akugambye.” 18Awo Samweli n'amubuulira byonna, n'atabaako ky'amukisa. Eli n'agamba nti: “Ye Mukama, akole nga bw'asiima.”
19Samweli n'akula, era Mukama n'aba wamu naye. Mukama n'ataganya kigambo kya Samweli na kimu kugwa butaka. 20Awo Abayisirayeli bonna, okuva e Daani okutuuka e Beruseba, ne bamanya nti Samweli akakasiddwa okuba omulanzi wa Mukama. 21Mukama n'ayongera okulabikira mu Siilo, gye yeeragira Samweli, era n'ayogera naye. Era Samweli buli kye yayogeranga, ng'Abayisirayeli bonna bakiwuliriza.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.