1 ABAMAKKABEEWO 2
2
Matatiya ne batabani be
1Mu nnaku ezo, kabona asibuka mu nnyumba ya Yoyaribu, ayitibwa Matatiya, mutabani wa Yowanne, Yowanne mutabani wa Simyoni, n'ava e Yerusaalemu, n'asenga e Modeyini. 2Matatiya oyo, yalina batabani be bataano: Yowanne, era ayitibwa Gaadi, 3Simooni, era ayitibwa Tassi, 4Yuda, era ayitibwa Makkabeewo, 5Eleyazaari, era ayitibwa Avaraani, ne Yonataani, era ayitibwa Afusi.
6Matatiya bwe yalaba ebibi ebikolebwa mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu, 7n'agamba nti:
“Nga nfudde! Nazaalirwa ki nze,
okulaba ab'eggwanga lyange bwe baggwaawo,
n'ekibuga ekitukuvu bwe kizikirira,
n'okukibeeramu nga kiweebwayo eri abalabe,
nga n'Essinzizo liri mu mikono gya bagwira?
8Essinzizo liri ng'omuntu atalina kitiibwa.
9Ebintu byakyo ebyekitiibwa,
byanyagibwa ne bitwalibwa.
Abaana abato mu kyo battirwa mu nguudo.
Abavubuka abakirimu battibwa abalabe.
10Ggwanga ki eritalumbaganye bwakabaka bwakyo,
era eriteenyagidde bugagga bwakyo?
11Byonna ebikiwoomya bitwaliddwa.
Tekikyefuga, kifugibwa buddu!
12Laba Essinzizo lyaffe
eryekitiibwa era amakula
bannamawanga balyonoonye.
13Kale tubeerera ki abalamu?”
14Matatiya ne batabani be, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'obuyinike, ne bambala ebikutiya, ne bakungubaga nnyo.
15Awo ababaka, kabaka be yatuma okuwaliriza abantu okulekayo enzikiriza yaabwe, ne batuuka mu kibuga Modeyini, okubawaliriza okutambirira balubaale. 16Bangi mu Bayisirayeli, baagenda gye bali, ne bakkaanya nabo. Naye Matatiya ne batabani be, ne babawakanya. 17Ababaka ba kabaka ne bagamba Matatiya nti: “Ggwe mukungu omukulu assibwamu ekitiibwa mu kibuga kino. Era owagirwa batabani bo ne baganda bo. 18Kale ggwe oba osooka okujja, okole ebyo, kabaka by'alagira, ng'ab'amawanga amalala bonna, n'abantu b'omu Buyudaaya, n'abo abaasigala mu Yerusaalemu bwe bakoze. Olwo ggwe ne batabani bo, munaaweebwa ekitiibwa, ne muyitibwa mikwano gya kabaka. Mujja kuweebwa zaabu ne ffeeza, n'ebirabo ebirala bingi.”
19Matatiya n'addamu mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Ab'amawanga gonna agali mu bwakabaka, ne bwe banaawulira kabaka ne bakkiriza okulekayo enzikiriza za bajjajjaabwe batuukirize by'alagira, 20nze n'abaana bange ne baganda bange tujja kwongera okukuuma endagaano, Katonda gye yalagaana ne bajjajjaffe. 21Tetusobola n'akatono okuva ku mateeka ga Katonda, ne ku biragiro bye. 22Tetujja kuwulira biragiro bya kabaka, era tetusobola kuva ku ddiini yaffe n'akatono.”
23Yali yaakamaliriza okwogera ebyo, Omuyudaaya omu ne yeesowolayo nga bonna balaba, n'ajja okutuukiriza ekiragiro kya kabaka, ng'atambirira balubaale, mu kifo kye baateekawo okutambiriramu. 24Matatiya bwe yamulaba n'ajjula obusungu n'omwoyo ogulumirwa Amateeka ga Katonda n'afubutuka, n'amuttira mu kifo ekyo kyennyini. 25Era n'atta n'omubaka wa kabaka, eyatumibwa okuwaliriza abantu okutambirira balubaale. N'asaanyaawo n'ekifo ekyateekebwawo okutambiriramu. 26Bw'atyo Matatiya n'alaga nga bw'alumirwa ennyo Amateeka ga Katonda, nga Finehaasi bwe yakola, bwe yatta Zimuri, mutabani wa Saalu.#Laba ne Kubal 25:6-15
Matatiya ategeka olutalo
27Awo Matatiya n'ayita mu kibuga ng'aleekaana nnyo nti: “Buli alumirwa Amateeka ga Katonda, n'okukuuma Endagaano ye, angoberere.” 28Awo ye ne batabani be, ne baddukira mu nsozi. Ebyabwe byonna ne babireka mu kibuga.
29-30Awo Abayisirayeli bangi abaali bagezaako okuba abawulize eri Katonda nga bagondera ebiragiro bye, ne bagenda n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, era n'ebisolo byabwe, ne babeera mu ddungu, kubanga baabonyaabonyezebwanga nnyo. 31Awo ebigambo ne bituuka ababaka ba kabaka n'abaserikale be, abaali mu Yerusaalemu, mu kigo eky'okwerindiramu abalabe. Ne bamanya nti waliwo abasajja abaajeemera ekiragiro kya kabaka, abaagenda ne beekweka mu ddungu. 32Abaserikale bangi ne babawondera. Bwe baabazuula we bali, ne babazingiza, babalumbe ku lwa Sabbaato.#Laba ne 2 Bamak 6:11 33Awo ne babagamba nti: “Muveeyo mukole ebyo kabaka bye yalagira, lwe munaawonya obulamu bwammwe.” 34Naye bo ne baddamu nti: “Tetujja kuvaayo, era tetujja kuwulira kiragiro kya kabaka, wadde okusobya etteeka lya Sabbaato.”
35Abaserikale ne babalumba amangwago. 36Abayudaaya ne bateerwanako, wadde okubakasuukirira ejjinja, oba okuzibikira omulyango gw'empuku, mwe baali beekwese. 37Baagamba bugambi nti: “Ka tufe nga tulina emitima emirongoofu. Eggulu n'ensi bye biriba abajulirwa, nti mutusse mu butali bwenkanya.” 38Awo abalabe ne balumba ku lwa Sabbaato, ne batta abasajja ne bakazi baabwe n'abaana baabwe, n'ebisolo byabwe. Abantu abattibwa ne bawera lukumi.
39Matatiya ne banne bwe baawulira ekyo, ne banakuwala nnyo, 40ne bagambagana nti: “Singa tunaakola nga Bayudaaya bannaffe abo bwe bakoze, ne tugaana okulwanyisa ab'amawanga amalala, okutaasa obulamu bwaffe n'eddiini yaffe, mu bbanga ttono bajja kutusaanyizaawo ddala ku nsi.” 41Ku lunaku olwo ne bamalirira nti: “Singa wabaawo atulumba ku lwa Sabbaato, tujja kwerwanako, tuleme kufa ffenna, nga baganda baffe abo bwe baafiira mu mpuku.”
42Matatiya ne banne, ne beegattibwako ekibiina ky'Abayudaaya abalumirwa ennyo eggwanga lyabwe, era abasajja abasingira ddala amaanyi n'obuzira mu Yisirayeli, abaali beevuddemu ku bwabwe, okulwanirira Amateeka ga Katonda. 43Era n'abo abaddukanga okuyigganyizibwa, ne babongeramu amaanyi. 44Bwe baamala okwekolamu eggye, obusungu bwabwe ne babumalira mu kulumba Bayudaaya aboonoonefu. Abo abaabasumattuka, ne baddukira mu b'amawanga amalala okwewonya. 45Matatiya ne banne, ne balaga buli wantu, nga bagenda bamenya ebifo omutambirirwa balubaale, 46era nga bakomola lwa mpaka, buli mwana mulenzi atali mukomole, gwe baasanganga mu bitundu bya Yisirayeli. 47Baasobola bulungi n'okuyigga ababaka ba kabaka abo ab'amawanga amalala abeekulumbaza. 48Amateeka ga Musa ne bagaggya mu mikono gy'ab'amawanga amalala n'egya bakabaka baabwe, era ne bamenyawo obuyinza bwa kabaka Antiyooko omwonoonyi.
Okufa kwa Matatiya
49Matatiya bwe yatuusa ekiseera eky'okufa, n'agamba batabani be nti: “Ettima n'obukambwe bye byefuze ebiseera bino bye tulimu. Abantu abeekulumbaza be bali mu buyinza, era batukaabya. 50Naye mmwe baana bange, muteekwa okulumirwa ennyo Amateeka ga Katonda n'okuwaayo obulamu bwammwe, okulwanirira Endagaano, Katonda gye yakola ne bajjajjaffe. 51Mujjukire bajjajjaffe bye baakola mu budde bwabwe. Mukole nga bo, mulifuna ekitiibwa n'erinnya eritalyerabirwa. 52Mujjukire Aburahamu bwe yagezebwa, ne yeesiga Mukama, era Mukama n'amusiima olw'obwesigwa.#Laba ne Nta 15:16; 22:15-18 53Yosefu mu kiseera kye yabonaaboneramu, yakwata ebiragiro bya Katonda, n'afuuka omufuzi mu nsi y'e Misiri.#Laba ne Nta 39:1–45:28 54Jjajjaffe Finehaasi bwe yalaga okulumirwa ennyo ebya Katonda, yasuubizibwa nti bazzukulu be banaabeeranga bakabona ennaku zonna. 55Yoswa yafuulibwa omulamuzi mu Yisirayeli kubanga yatuukiriza Mukama by'alagira.#Laba ne Kubal 13:1–14:12 56Kalebu bwe yayanjulira ekibiina ky'abantu obubaka obulungi, yaweebwa ekibanja okumwebaza. 57Dawudi yaweebwa obwakabaka obw'emirembe gyonna kubanga yali wa kisa.#Laba ne 2 Sam 7:16 58Eliya yatwalibwa mu ggulu, kubanga yalumirwa nnyo Amateeka ga Katonda.#Laba ne 2 Bassek 2:9-12 59Ananiya ne Misayeli baawonyezebwa ennimi z'omuliro, kubanga baalina okukkiriza.#Laba ne Dan 3:8-30 60Daniyeli yaggyibwa mu kamwa k'empologoma, kubanga yalina omutima omulongoofu.#Laba ne Dan 6:1-24; Bel 31-42 61Mumanye nti mu buli mulembe abeesiga Mukama tebazikirira. 62Temutyanga bigambo bya muntu mwonoonyi, kubanga ajja kufa, ekitiibwa kye kiggweewo ng'avunze, envunyu zimulye. 63Olwaleero ayinza okugulumizibwa, naye enkeera talirabikako, kubanga aliba azzeeyo mu nfuufu mwe yava, nga ne by'ateesa biweddewo. 64Naye mmwe baana bange, mube ba maanyi, mulwane masajja, mulwanirire Amateeka ga Katonda, kubanga ge galibaweesa ekitiibwa.
65“Muganda wammwe Simooni wuuno, mmanyi nga musajja wa magezi. Mumuwulirenga bulijjo, abeere kitammwe. 66Yuda Makkabeewo wa maanyi okuviira ddala mu buto bwe. Ye aba akulembera eggye lyammwe mu lutalo nga mulwanyisa omulabe. 67Muyite bonna abakwata amateeka ga Katonda babeegatteko, mulyoke muwoolere eggwanga olw'ebibi ebikolebwa ku bantu bammwe. 68Ab'amawanga amalala bye bakoze mubisasule, era mukolenga bulijjo Amateeka ga Katonda bye galagira.”
69Awo Matatiya n'abawa omukisa, n'afa. 70Yafa mu mwaka ogw'ekikumi mu ana mu mukaaga (146).#2:70 omwaka ogwe 146: Gwe mwaka ogwa 166 nga Kristo tannazaalibwa. Batabani be ne bamuziika ku biggya bya bajjajjaabe e Medeyini. Abantu ba Yisirayeli bonna ne bamukungubagira nnyo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.