1
MATAYO 9:37-38
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
N'alyoka agamba abayigirizwa be nti: “Eby'okukungula bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe nnannyini bya kukungula asindike abakozi mu by'okukungula bye.”
2
MATAYO 9:13
Naye mugende mwetegereze amakulu g'ekigambo kino nti: ‘Ekisa kye njagala sso si kitambiro.’ Abalungi si be najja okuyita, wabula aboonoonyi.”
3
MATAYO 9:36
Bwe yalaba abantu enkumu, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali basobeddwa, nga bali ng'endiga ezitalina musumba.
4
MATAYO 9:12
Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
5
MATAYO 9:35
Yesu n'ayitaayita mu bibuga byonna ne mu byalo, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka, era ng'awonya abantu obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna.