1
MATAYO 10:16
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
“Mwekkaanye: nze mbatuma nga muli ng'endiga mu misege wakati. Kale nno mube beegendereza ng'emisota, era mube ng'amayiba obutaba na bukuusa.
2
MATAYO 10:39
Agezaako okutaasa obulamu bwe, alibufiirwa. Afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.
3
MATAYO 10:28
“Era temutyanga abo abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo. Naye mutyenga Katonda ayinza okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu muliro ogutazikira.
4
MATAYO 10:38
N'oyo ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tansaanira.
5
MATAYO 10:32-33
“Buli anjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. Kyokka oyo anneegaana mu maaso g'abantu, nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
6
MATAYO 10:8
Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, muwonye abagenge balongooke, mugobe emyoyo emibi ku bantu. Mwaweebwa buweebwa, nammwe mugabe.
7
MATAYO 10:31
Kale nno temutya, muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8
MATAYO 10:34
“Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi. Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.