Yobu 6
6
Yobu ayanukula Erifaazi
1Yobu n'ayanukula n'agamba nti,
2“Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa,
N'ennaku yange n'eteekebwa ku minzaani wamu,
3Zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja,
Ebigambo byange kye kyenvudde mbyanguyiriza.
4Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna bunnyingidde mu mubiri.
N'obusagwa bwabwo bumbunye.
Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.#Yob 16:13, Zab 38:2; 88:16
5Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo?
Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6Ekitaliimu nsa kiriika nga tokirunzeemu munnyo?
Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7Emmeeme yange teyagala ku biryako,
Biriŋŋaanga eby'okulya eby'omuzizo gye ndi.
8Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba;
Katonda singa ampadde kye nneegomba!
9Katonda singa asiimye okumbetenta;
Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!#Kubal 11:15, 1 Bassek 19:4, Is 38:12
10Ekyo kyandinkubagiza,
Olwo nandijaganyizza, olw'okulumwa awatali kusaasirwa:
Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.#Leev 19:2, Is 57:15, Kos 11:9
11Amaanyi ge nnina galuwa nnyongere okuba omulamu?
Ye obulamu bungasa ki obutalina ssuubi?
12Ndi mugumu nga mayinja?
Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13Sikyalina maanyi mu nze.
Sikyalina kye nsobola okukola.#Yob 5:12
14Ali mu buzibu yeetaaga mikwano gye okumukola eby'ekisa,
Ne bw'aba alese Omuyinza w'ebintu byonna.#Nge 17:17
15Baganda bange mu nnimbye ng'akagga akateesigwa.
Ng'obugga obukalirakalira.#Yer 15:18
16Obuddugala olw'amazzi agakutte,
Era omuzira mwe gwekweka:
17Buli lwe bubuguma, nga bukalira,
Omusana olwakako, tobulabako.
18Abatambuze bakyama nga babunoonya.
Batambulatambula mu ddungu ne bazikirira.#Yob 12:24
19Abatambuze b'e Tema baabutunuulira.
N'abatambuze b'e Seeba baabulinamu essuubi.#Yob 1:15, Is 21:14
20Baaswala kubanga baabwesigira bwereere.
Bwe baabutuukako ne basoberwa.#Yer 14:3
21Nammwe bwe mutyo bwe munfukidde:
Mulaba ndi mu buzibu, ne mutya.
22Mbagambye nti mumpe ekirabo?
Oba nti Mutoole ku byammwe muweeyo enguzi ku lwange?
23Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe?
Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24Kansirike, mumpabule;
Muntegeeze kye nnasobya.
25Ebigambo ebituufu bimatiza.
Naye empaka zammwe zigasa ki?
26Mulowooza bye njogera tebiriimu nsa,
Era njogedde nga sirina ssuubi?#Yob 7:7, Is 41:29
27Mwandikubidde ne mulekwa akalulu okumufuula omuddu,
Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.#Yo 3:3, Nak 3:10
28Kale nno mukkirize okuntunuulira;
Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29Muddemu mwerowooze temunsibako kibi.
Mbeegayiridde mwerowooze nate,
ensonga yange ntuufu.
30Waliwo ekitali kituufu kye njogedde?
Siyinza kwawula kirungi na kibi?”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.