Ves al contingut

Yobu 5

5
Erifaazi akyayogera
1“Koowoola nno, ani anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw'onookyukira akuyambe?#Yob 15:15, Zab 89:5
2Kubanga okweraliikirira kutta omusirusiru,
N'obuggya butta atalina magezi.
3Nnalaba omusirusiru nga ye nyweza,
Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.#Zab 37:35, Yer 12:2,3
4Abaana be baba wala n'emirembe,
Era babetentebwa mu mulyango,
Era tewaba abawonya.#Zab 119:155; 127:5, Nge 22:22, Am 5:12
5Abayala balya byakungula,
Baggyayo ne biri eyo mu maggwa,
Ab'omululu beegomba obugagga bwe.
6Kubanga obuyinike tebuva mu nfuufu,
Ne nnaku teva mu ttaka;
7Naye abantu bazaalirwa kulaba obuyinike,
Ng'ensasi bwe zimansukira mu bbanga.#Lub 3:17-19, Yob 14:1, Mub 2:23
8Singa nze ggwe, nnandinoonyeza Katonda,
Era oyo gwe nandyanjulidde ensonga yange:
9Akola ebikulu ebitategeerekeka,
N'eby'amagero ebitabalika:#Yob 11:7; 37:5, Zab 40:5; 72:18, Bar 11:33, Kub 15:3
10Atonnyesa enkuba ku nsi,
N'afukirira amazzi ku nnimiro:#Zab 65:9,10; 147:8, Yer 5:24; 14:22, Mat 5:45, Bik 14:17
11Agulumiza abeetoowaza,
N'abo abakungubaga n'abawa essanyu.#1 Sam 2:7, Zab 113:7
12Affaffaganya enkwe ez'abakalabakalaba;
Ne batayinza kutuukiriza bye bategeka.#Nek 4:15, Zab 33:10, Is 8:10, 1 Kol 1:19
13Akwasa abagezi mu bugezigezi bwabwe.
Era akomya mangu okuteesa kwa b'enkwe.#Zab 9:15, 1 Kol 3:19
14Baba n'ekizikiza emisana,
Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.#Ma 28:29, Yob 12:25, Is 59:10
15Katonda awonya abanaku okuttibwa,
Alokola abali mu bwetaavu okuva mukunyigirizibwa ab'amaanyi.
16Olwo abaavu ne baba n'essuubi,
Ababi ne babunira.#Zab 107:42
17Laba, aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula:
Kale tonyooma kukangavvulwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.#Zab 94:12, Nge 3:11, Beb 12:5, Kub 3:19
18Kubanga ye alumya, era ye anyiga;
Ye afumita era engalo ze ze ziwonya.#Ma 32:39, Is 30:26; 61:1, Kos 6:1
19Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga;
Weewaawo, ku gw'omusanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.#Zab 34:19; 91:3,10, Am 1:6
20Mu njala anaakuwonyanga okufa.
Ne mu ntalo anaakuwonyanga okuttibwa ekitala.#Zab 33:19
21Anaakuwonyanga abakuwaayiriza.
Era tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.#Zab 31:20
22Onoosekereranga okuzikirira n'enjala;
Era tootyenga nsolo z'omu ttale.#Is 11:8,9; 65:25, Kos 2:18
23Kubanga mu nnimiro yo temuubeenga mayinja;
N'ensolo ez'omu nsiko teziikulumbenga.
24Oneekakasanga nti mu nnyumba oli mirembe;
Era onoolambulanga ekisibo kyo nga tekuliiko ebuze.#Yob 21:9
25Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo lya kwala.
Lyeyongere ng'omuddo ogw'oku ttale.#Yob 21:8, Nge 9:11; 10:27
26Olituuka mu ntaana yo ng'owangadde emyaka mmingi.
Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kireetebwa okuwuulwa.
27Ebyo twabyekenneenya, ne tulaba nga bya mazima.
Biwulire, obimanye olyoke obeere bulungi.”#Zab 111:2