Ves al contingut

Yobu 7

7
Yobu yeemulugunyiza Katonda
1“Obulamu bw'omuntu ku nsi bwa kufaabiina.
Bwakukuluusana ng'obw'akolera empeera.#Yob 14:14
2Ng'omuddu eyeegomba okubeera mu kisiikirize,
Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:#Leev 19:13, Yob 14:6
3Bwe ntyo nange bwe nnaweebwa emyezi egitangasa,
N'ebiseera eby'ekiro ebyanteekerwawo bya buyinike gyendi.#Yob 7:16; 30:17
4Bwe ngalamira ne nneebuuza nti:
Bunaakya ddi? ng'ekiro tekigwako,
Era nsula nkulungutana okukeesa obudde.#Ma 28:67
5Omubiri gwange gujjudde envunyu n'obujama.
Olususu lwange lufukuuka ne lufulumya amasira.#Yob 2:7,8
6Ennaku zange zidduka okusinga n'ewuzi z'omutunzi w'olugoye ku kyalaani.
Era ziggwaako nga tewali ssuubi.#Yob 9:25
7Jjukira ng'obulamu bwange mukka,
Amaaso gange tegakyaddayo kulaba birungi.#Zab 78:39
8Eriiso erintunulako teririddayo kundabako.
Amaaso galinnoonya, naye nga siriiwo.#Yob 7:21; 20:9
9Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula,
Bw'atyo n'oyo akka emagombe tagenda kwambuka aveeyo.#Yob 21:13; 30:15
10Takomawo nate mu nnyumba ye,
N'abantu be yabeeranga nabo bamwerabira.#2 Sam 12:23, Yob 8:18; 10:21, Zab 103:16
11Kyennaava nange siisirika,
Kaanjogerere mu bubalagaze bw'omwoyo gwange;
Nga nneemulugunya lw'obuyinike obundi ku mwoyo.#1 Sam 1:10, Yob 10:1; 3:20; 21:4, Is 38:15
12Ndi nnyanja, oba kikulejje eky'omu nnyanja,
N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa,
N'obuliri bwange bunerabize okwemulugunya kwange;#Yob 9:27
14Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto,
N'onkanga n'okwolesebwa:
15Emmeeme yange neyeegomba okutugibwa,
Nfe okusinga okuba amagumba gano.#Yob 19:20; 30:17
16Ntamiddwa obulamu bwange;
siribeerawo ennaku zonna.
Ndeka; kubanga obulamu bwange mukka bukka.#Yob 9:21; 10:1,20, Zab 39:13
17Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza,
Era ggwe okumussaako omwoyo gwo?#Zab 8:4; 144:3, Beb 2:6
18N'okumujjira buli nkya,
N'omugeza buli kaseera?#Zab 11:4,5; 17:3
19Olituusa wa obutanzigyako maaso,
N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?#Yob 14:6
20Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu?
Kiki ekyakunteesaawo okuba eky'okunyigirizakwo,
Lwaki nfuuse omugugu gy'oli?#Yob 16:12, Is 27:3, Kung 3:12
21Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano ngenda kufa ngalamire mu nfuufu,
Naawe bw'olinnoonya, ndiba siikyaliwo.”#Yob 7:8, Dan 12:2