Ves al contingut

Yobu 4

4
Okwogera okusooka
(4:1—14:22)
Erifaazi
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu Yobu nti,
2“Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga?
Naye ani ayinza okusirika obusirisi naatabaako kyayogera?
3Wayigirizanga bangi,
Era wanywezanga emikono eminafu.#Is 35:3, Beb 12:12
4Ebigambo byo byawaniriranga oyo eyeesittala,
Era byamuwanga amaanyi n'anywera naatagwa.
5Naye kaakano kituuse ku gwe, n'ozirika;
Kikukuteko, ne weeraliikirira.
6Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo,
N'obulamu bwo obulongoofu, tebukuwa ssuubi?#Yob 1:1; 31:24
7Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali asaanyewo nga tazzizza musango?
Oba walaba wa omutuukirivu ng'azikirizibwa?#Zab 37:25
8Ndabye, abo abakabala obujeemu,
Ne basiga okwonoona, era ebyo bye bakungula.#Nge 22:8, Kos 10:13, Bag 6:7,8
9Katonda bwassiza omukka nga bazikirira,
Nga kibuyaga, Katonda abamalawo mu busungu bwe.#Kuv 15:8, Zab 18:15, Is 11:4; 30:33, 2 Bas 2:8
10Okuwuluguma kw'empologoma,
n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe,
N'amannyo g'empologoma ento gamenyebwa.#Zab 58:6
11Empologoma enkulu bw'efa ng'omuyiggo gugibuze,
Olwo n'abaana baayo nga basaasaana.
12Ekigambo kyandeeterwa mu kaama,
N'okutu kwange kwa wulira kaama.#Yob 26:14
13Mu kulowooza okw'omu kirooto okw'ekiro,
Otulo otungi mwe tukwatira abantu,#Lub 15:12, 1 Sam 26:12, Yob 33:15, Is 29:10
14Entiisa n'okukankana ne binkwata.
Amagumba gange gonna ne ganyeenyezebwa.
15Empewo ne yita mu maaso gange;
Enviiri ne zinva ne ku mutwe gwange.
16N'ayimirira buyimirizi, naye nga siyinza kwetegereza kye ndaba,
Ekifaananyi kyali mu maaso gange:
nga wonna kasirikiriro, ne mpulira eddoboozi nti:#Kubal 12:8, 1 Bassek 19:12, Zab 17:15
17Omuntu afa, alisinga Katonda obutuukirivu?
Omuntu aliba mulongoofu n'asinga eyamukola?#Yob 9:2; 25:4; 32:2, Bar 3:4
18Katonda teyeesiga baddu be,
Ne bamalayika be abanenya olw'ensobi zaabwe.#Yob 15:15
19Talisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala,
Omusingi gwabwe guli mu nfuufu,
Ababetentebwa okusinga n'ekiwojjolo!#Yob 10:9; 13:28; 33:6, Is 64:8, 2 Kol 4:7; 5:1
20Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi:
Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.#Zab 90:5,6, Is 38:12; 57:1
21Balifa tebannaba bagezi.
Ebintu byabwe abalala balibitwala.”#Yob 36:12, Nge 5:23; 10:21, Kos 4:6