Ves al contingut

Yobu 3

3
Mikwano gya Yobu gyogera ku kubonaabona kwe n'okwanukula kwa Yobu
(3:1—42:6)
Yobu akolimira olunaku lwe yazaalirwako (3:1-26)
1Awo nga bakyali mukasirikiriro ako ak'enaku, Yobu nga ali n'emikwano gye, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako.
2Yobu n'agamba nti,
3“Olunaku luzikirire lwe nnazaalirwako,
N'ekiro ekyagamba nti, ‘Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.’#Yer 20:14-18
4Olunaku olwo lube ekizikiza;
Katonda mu ggulu aleme okulujjukira,
Ne njuba ereme okwakirako.
5Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo.
Ekire kirubutikire,
Byonna ebiddugaza obudde birutiise.#Yob 10:21,22, Zab 23:4, Is 9:2, Luk 1:79
6Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikibutikire,
Era kisangulwe mu nnaku ez'omu mwaka;
Kireme kubalibwa mu myezi.
7Ddala, ekiro ekyo kibe kigumba;
Kireme kubeeramu kusanyuka kwonna.
8Kikolimirwe abo abakolimira obudde,
Abeeteeseteese okusaggula goonya.#Yob 41:1
9Emmunyeenye ez'amakya gaakyo zibe kizikiza:
Kisubire ekitangaala, naye kibule,
Era kireme okulaba ku mmambya.#Yob 41:18
10Kubanga tekyafuula mmange mugumba,
Ne kindetera okulaba obuyinike.
11Lwaki saafiira mu lubuto?
Lwaki ssaafa nga nnakazaalibwa?#Yob 10:18,19
12Mmange yanderera ki ku maviivi?
Lwaki yannyonsa amabeere?#Lub 30:3; 50:23
13Kubanga bwe nnandifudde nnandisirise,
Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
14Nga bassekabaka n'abakungu b'ensi,
Abeezimbira embiri mu matongo;#Is 58:12
15Oba nandyebase wamu n'abalangira abajjuza,
Ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza,
16Oba lwaki ssagibwawo ng'omwana omusowole,
Oba ng'omwana azaalibwa ng'afudde atalaba ku kitangaala n'akatono?#Zab 58:8, Mub 6:3, 1 Kol 15:8
17Eyo mu ntaana ababi bakoma okuteganya abantu,
Era eyo abakoowu gye bawummulira.#Yob 17:16
18Eyo abasibe gye bafunira emirembe,#Kuv 5:13,14
Tebawulira ddoboozi lya mukozesa.
19Omuto n'omukulu bali eyo;
N'omuddu tafugibwa mukama we.
20Alaba obuyinike aweerwa ki ekitangaala?
Ali mu buyinike abeerera ki omulamu?#1 Sam 1:10, 2 Bassek 4:27, Yob 10:1, Nge 31:6
21Waliwo abeegomba okufa, naye ne kutajja;
Ne bakunoonya nga abasima obugagga obukwekeddwa.#Nge 2:4, Kub 9:6
22Basanyuka ennyo nnyini bwe bafa,
Bajaguza, bwe bateekebwa mu ntaana.
23Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana,
Era Katonda amukolerako ki olukomera?#Yob 19:9, Is 40:27
24Kubanga okusinda ye linga emmere yange,
N'okuwuluguma kwange kulinga amazzi agafukibwa.#Zab 22:1; 38:8; 42:3; 80:5; 102:9
25Kubanga kye ntya kye kinzijira,
N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.#Nge 10:24
26Sirina mirembe, era siwummula,
Wabula obuyinike bwe bunzijira.”