Yobu 2
2
Yobu alwala obulwadde obuzibu
1Awo olunaku lwali lumu nate, abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.#Yob 1:6 2Mukama n'abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n'addamu Mukama nti, “Nva kuyitaayita mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.”#Yob 1:7 3Mukama n'agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira, ow'amazima, anzisaamu ekitiibwa, era eyeewala okukola ebibi. Era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wanzikirizisa, omuzikiririze obwereere.”#Yob 1:8 4Setaani n'addamu Mukama nti, “Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe. 5Naye kaakano golola omukono gwo, okwate ku magumba ge ne ku mubiri gwe, ajja kukuvumira mu maaso go.”#Yob 1:5 6Mukama n'agamba Setaani nti, “Laba, ali mu buyinza bwo, kyokka mulekere obulamu bwe.” 7Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'agenda n'alwaza Yobu amayute amabi ennyo omubiri gwonna, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.#Kuv 9:9, Ma 28:35, Is 1:6 8Yobu n'akwatanga oluggyo okweyaguza. N'atuulanga mu vvu.#Yob 42:6, Ez 27:30, Yon 3:6 9Awo mukazi we n'amugamba nti, “Okyanywezezza obutayonoona bwo? weegaane Katonda, ofe.”#Yob 1:5; 27:5,6 10Naye Yobu n'amugamba nti, “Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! tunaaweebwanga ebirungi byokka okuva ewa Katonda ne tutaweebwa bibi?” Mu ebyo byonna Yobu teyayogera bubi ku Katonda.#Yob 1:22, Zab 74:18,22, Yak 5:10,11
Mikwano gya Yobu abasatu bajja okumusaasira
11Awo mikwano gya Yobu abasatu: Erifaazi Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi, bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne basalawo buli omu okuva ewuwe, ne bajja okumukaabirako n'okumukubagiza.#Yob 42:11, Nge 17:17, Bar 12:15, Yob 10:18,19 12Awo bwe baamulengera nga bakyali wala ne batamutegeera, Ne batema emiranga, ne bakaaba, buli omu n'ayuza ekyambalo kye, ne beeyiira enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe bagimansa mu bbanga.#Lub 37:29, Yos 7:6, Kung 2:10, Ez 27:30 13Awo ne batuula wamu naye ku ttaka okumala ennaku musanvu, emisana n'ekiro, nga tewali amugamba kigambo: kubanga baalaba okubonaabona kwe yalimu nga kungi nnyo ddala.#Lub 50:10, Ez 3:15
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.