Ves al contingut

Abaggalatiya 5

5
Kristo asinga okukomolebwa kw'omu mateeka
1Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.#Bag 4:5,31, Bik 15:10
2Kaakano, nze Pawulo, kambategeeze nti, bwe munaakomolebwa, nga Kristo taliiko ky'abagasa. #2 Kol 10:1 3Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna. 4Mwawuliddwa ku Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa. 5Kubanga nga tuyita mu Mwoyo, olw'okukkiriza, tulindirira essuubi ery'obutuukirivu. 6Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa newakubadde obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.#Bag 6:15, 1 Kol 7:19 7Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima? 8Okusendebwasendebwa okwo tekwava eri oyo abayita.#Bag 1:6 9Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.#1 Kol 5:6 10Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.#Bag 1:7, 2 Kol 11:15 11Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? Kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.#1 Kol 1:23 12Nnandyagadde abo abababuguutanya beeraawe!#Zab 12:3
Kristo yatuggya mu kikolimo ky'amateeka
(5:13—6:10)
13Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye temukozesa ddembe lyammwe, kukola omubiri bye gwagala, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.#1 Peet 2:16 14Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.
Kati kutambulira mu Mwoyo si mu mateeka
16Naye njogera nti mutambulirenga mu Mwoyo, era temuutuukirizanga kwegomba kwa mubiri. 17Kubanga okwegomba kw'omubiri kulwanagana n'Omwoyo, n'Omwoyo gulwanagana n'omubiri; kubanga ebyo byombiriri bikontana, mulemenga okukola ebyo bye mwagala.#Bar 7:15,23, Yak 4:5, 1 Peet 2:11 18Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.#Bar 8:14 19Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, obugwenyufu, obukaba, 20okusinza ebitali Katonda, obulaguzi, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, 21ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: mbalabula nga bwenasooka okubalabula nti abo abakola ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.#Bef 5:5, Kub 22:15 22Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,#Bef 5:9 23obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.#1 Tim 1:9 24N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'omululu gwagwo n'okwegomba kwagwo.#Bar 6:6, Bak 3:5, 1 Peet 2:11
25Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo.#Bar 8:4 26Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tetukwatibwa buggya fekka na fekka.#Baf 2:3