Abaggalatiya 4
4
Kristo anunula abafugibwa amateeka
1Ntegeeza kino nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna; 2naye afugibwa abakuza n'abasigire okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira nga kituuse. 3Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato, twali baddu nga tufugibwa emyoyo egy'omu nsi. #Bag 3:23; 5:1, Bak 2:20 4Naye ekiseera kye nnyini bwe kyatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,#Bef 1:10 5alyoke abanunule abafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.#Bag 3:13,26 6Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti “Aba, Kitaffe.”#Bar 8:15 7Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.#Bag 3:29, Bar 8:16,17
8Naye mu nnaku ziri bwe mwali temunnamanya Katonda, mwabanga baddu ba bitonde ebitali bakatonda. 9Naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya okudda emabega okugoberera emyoyo eminafu egisabiriza, ate era mweteeke mu buddu bwagyo? 10Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka.#Bar 14:5, Bak 2:16 11Ntidde si kulwa nga okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere.#2 Yok 1:8
12Mbeegayirira ab'oluganda, mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, temunsobyangako; #2 Kol 2:5 13naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira Enjiri omulundi ogwolubereberye;#Bik 16:6, 1 Kol 2:3 14naye newakubadde nga nnabazitowerera olw'obulwadde bwange, temwannyooma oba okunsekerera, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu.#Bik 14:11,12 15Kale okumatira okwo kwe mwafuna kwadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kyetaagisa, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze. 16Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima?#Am 5:10 17Abo babakozesa bukozesa, naye si lwa bulungi; kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gyebali.#Bag 1:7 18Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka. 19Abaana bange abato, munnyongedde okubeera mu bulumi obungi, okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe,#1 Kol 4:15 20era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okukyusa eddoboozi lyange, kubanga mberalikiridde nnyo.
21Mmumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka?#Bag 3:23 22Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omulala wa wa ddembe.#Lub 16:15; 21:2 23Ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza.#Bar 9:7-9, Lub 17:16 24Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab'obuddu, eyo ye Agali.#Bag 5:1, Bar 8:15 25Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be. 26Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe.#Beb 12:22 27Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Sanyuka, omugumba atazaala;
Yanguwa oyogerere waggulu, ggwe atali mu bulumi bwa kuzaala,
Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.”#Is 54:1
28Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kisuubizo nga Isaaka bwe yali. 29Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo bwe kiri ne kaakano.#Lub 21:9 30Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti, “Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.”#Lub 21:10,12, Yok 8:35 31Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye tuli baana ab'omukazi ow'eddembe. #Bag 3:29
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.