Ves al contingut

Abaggalatiya 6

6
Okuluŋŋamya ab'oluganda abagudde mu kibi
1Ab'oluganda, omuntu bw'abanga alina ekibi ky'akoze, mmwe ab'omwoyo mumuluŋŋamyenga mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.#Mat 18:15, Yak 5:19 2Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo. 3Kubanga omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu, so nga si bwali, aba yeerimbalimba. 4Naye buli muntu akeberenga omulimu gwe yekka, era n'okwenyumiriza kunaabanga mu ye yekka so si mu mulala. #2 Kol 13:5 5Kubanga buli muntu alyetikka omugugu gwe yekka. #Bar 14:12
6Naye oyo ayigirizibwa ekigambo agabanirenga wamu ebirungi byonna by'alina n'oyo amuyigiriza. #1 Kol 9:14 7Temulimbibwanga, Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky'asiga era ky'alikungula. 8Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo.#Bar 8:13, Yok 6:63; 3:6 9Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi: kubanga bwe tutakoowa, ebiro bwe birituuka, tulikungula, nga tetuzirise.#2 Bas 3:13 10Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey'okukkiriza.#2 Peet 1:7
Okulabula okusembayo
(6:11-18)
Pawulo yeenyumiririza mu Mukama waffe yekka
11Mulabe bwe mbawandiikidde mu nnukuta ennene n'omukono gwange nze. 12Bonna abaagala okwewoomereza mu mubiri be babawaliriza okukomolebwanga, balemenga okuyigganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo.#Bag 5:11, Baf 3:18 13Kubanga era n'abo bennyini abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye baagala mmwe okukomolebwanga, balyoke beenyumiririzenga ku mubiri gwammwe. 14Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula mu musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi.#1 Kol 1:31; 2:2 15Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa, si kye kikulu, wabula okufuuka ekitonde ekiggya.#Bag 5:6, 1 Kol 7:19, Baf 3:3 16N'abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibenga ku bo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.#Zab 125:5
17Okuva ne kaakano, omuntu yenna aleme okunteganya; kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.#2 Kol 4:10
18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu n'omwoyo gwammwe, ab'oluganda. Amiina.