Danyeri 8
8
Danyeri Ayolesebwa Endiga ennume n'Embuzi ennume
1Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa kabaka Berusazza, nze Danyeri, ne nfuna kwolesebwa okwaddirira kuli okwasooka. 2Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu, Susani, ekiri mu ssaza Eramu. Nnali nnyimiridde ku mabbali g'omugga Ulaayi.#Nek 1:1 3Bwe n'ayimusa amaaso gange, ne ndaba endiga ennume, eyalina amayembe abiri amawanvu, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Naye erimu ku mayembe ago nga lisingako linnaalyo obuwanvu, ate nga lye lyamera oluvannyuma.#Dan 8:20 4Ne ndaba endiga eyo ennume ng'etomera ebugwanjuba, n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, mpaawo nsolo eyayinza okugirwanyisa, era mpaawo eyayinza okuwona amaanyi gaayo. N'ekola nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza. 5Awo bwe nnali nkyafumiitiriza ku ekyo, amangwago embuzi ennume, eyalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo, n'esala okuva ku luuyi olumu olw'ensi okulaga ku lulala nga terinyeko ku ttaka. 6N'erumba n'obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga.#Dan 8:20 7Ne ngiraba ng'esemberera endiga ennume, mu busungu obungi n'egitomera era n'emenya amayembe gaayo abiri; n'endiga ennume teyalina maanyi kwetaasa, naye embuzi n'egimegga wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga eyo. 8Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, ne mu kifo kyalyo ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi.#Dan 8:21,22 9Ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, eryafuuka ery'amaanyi ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi ey'Ekitiibwa.#Ez 20:6,15, Dan 7:8 10Ne lyeyongera amaanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'ebyo mu ggye eryo ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libirinnyirira,#Is 14:13, Kuv 12:4 11ne lyegulumiza okwenkanankana n'Omukulu w'eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne lyonoona n'Ekifo Ekitukuvu.#Dan 11:31,36 12Olw'obujeemu eggye awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne lituukiriza buli kye lyayagala okukola. 13Awo ne mpulira omutukuvu omu ng'ayogera, n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti, “byo ebyoleseddwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, biribaawo kutuusa ddi? Okwonoona okungi, kulibeerawo kutuusa ddi? Okuwaayo awatukuvu era n'eggye biririnnyirirwa kutuusa ddi?”#Dan 4:13; 9:24-27 14N'amuddamu nti, “Birimala akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu bisatu (2,300), awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.”
Amakulu g'ebyo ebyayolesebwa
15Awo, nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne njagala ntegeere amakulu gaabyo. Mba nkyali awo, ngenda okulaba nga wayimiridde mu maaso gange ekyandabikira ng'omuntu.#Ez 1:26, Dan 7:13; 10:16,18, 1 Peet 1:10,11, Kub 1:13 16Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu nga liva wakati w'omugga Ulaayi, nga likoowoola nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo byayoleseddwa.” 17Awo n'asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise, naye n'aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w'omuntu, ebikwoleseddwa bya kiseera kya nkomerero.”#Ez 1:28; 2:1, Dan 11:35,40; 12:4,9, Luk 1:12 18Awo, bwe yali ayogera nange, ne nkwatibwa otulo tungi, ne ngwa nga nneevuunise, ye n'ankwatako n'angolokosa.#Dan 10:9,10,18, Luk 9:32, Kub 1:17 19N'agamba nti, “Kale nnaakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. Ebyo ebyakwolesebwa bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo.#Dan 11:36 20Endiga ennume gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, bwe bwakabaka bwa b'Abameedi n'Abaperusi. 21N'embuzi ennume ey'ekikuzzi bwe bwakabaka bwa Buyonaani; ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye.#Dan 8:5; 10:20; 11:3 22N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne musibukamu ana, bwe bwakabaka buna obuliva mu ggwanga eryo, naye bwo tebuliba n'amaanyi nga bwo.#Dan 8:8 23Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era nga n'abantu bayitirizza okwonoona, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe era omukujjukujju mu byonna byakola. 24Aliba n'obuyinza bungi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu abatukuvu.#Is 63:18, Dan 7:21; 11:28,30; 12:7, Kub 17:17 25Era olw'obukujjukujju bwe, aliba mulimba okusobola okukola by'ayagala. Alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa n'Omukulu w'abalangira, naye alizikirizibwa si n'amaanyi g'abantu.#Dan 8:11; 11:21,23,24 26Okwolesebwa kwewafuna ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe ebikwoleseddwa bikuume nga bya kyama, kubanga bya nnaku eziri ewala.”#Dan 8:14; 10:14; 12:4,9, Kub 10:4 27Nange Danyeri ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nzira ku mirimu gya kabaka. Kyokka ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye ne sibitegeera.#Dan 7:28
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.