Danyeri 9
9
Okusaba kwa Danyeri
1Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo, omumeedi, mutabani wa Akaswero, gwe yaliiramu obwakabaka bw'Abakaludaaya:#Dan 5:30,31; 11:1 2mu mwaka ogwolubereberye ogw'okufuga kwe, nze Danyeri nali nkebera mu bitabo, ne nzuula nti Yerusaalemi kirimala emyaka nsanvu (70) nga kizise, nga ekigambo kya Mukama bwe kyajjira nnabbi Yeremiya.#Ezer 1:1, Yer 25:12 3Awo ne nkyukira Mukama Katonda, okumunoonya nga nsaba, nga mwegayirira, wamu n'okusiiba nga nnyambadde ebibukutu era nga ntudde mu vvu.#Nek 1:4 4Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula nti, “Ai Mukama, Katonda omukulu era ow'entiisa, akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'osaasira abo abakwagala era abakwata amateeka go.#Kuv 34:6,7, Leev 26:40, Ma 7:9,21, Nek 1:5,6; 9:32 5Twasobya ne twonoona, ne tukola ebibi. Twajeema ne tuva ku mateeka go ne ku biragiro byo.#1 Bassek 8:47, Kung 3:42 6Tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna.#2 Byom 36:15,16, Ezer 9:11, Nek 9:34, Yer 7:25,26, Zek 1:6 7Ai Mukama, Ggwe oli mutuukirivu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri eri ffenna: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe,#Leev 26:40, Kung 1:18 8Ai Mukama, ffe ne bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, tuswadde kubanga twakwonoona ggwe. 9Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n'okusonyiwa: kubanga twamujeemera:#Nek 9:17, Zab 86:15 10so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yatuwa nga agayisa mu baddu be bannabbi.#Yer 26:4,5 11Weewaawo, Isiraeri yenna yamenya amateeka go, naakuvaako, n'agaana okuwulira eddoboozi lyo. Kyewava otuteekako ebikolimo bye walayira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wo: kubanga twakwonoona.#Leev 26:14-39, Ma 28:15-68, Nek 10:29, Is 1:4-6, Yer 40:3 12N'onyweza ebigambo byo, bye wayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe watuleetako obubi obunene: kubanga kye wakola Yerusaalemi wali tokikolangako walala wonna wansi w'eggulu.#Yer 39:16, Kung 1:12, Ez 5:9 13Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, okuleka ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, olwo tubeere n'amagezi okumanya amazima go. 14Mukama kyewava otunuulira obubi, n'otubonereza: kubanga Mukama Katonda waffe oli mutuukirivu mu bikolwa byo byonna by'okola, naffe tetwawulira ddoboozi lyo.#Nek 9:33, Yer 1:12 15Ne kaakano, Ayi Mukama Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi, ne weefunira ekitiibwa, ekikyaliwo ne kaakano: twayonoona, twakola bubi.#Kuv 14:18; 32:11, Ma 6:21, Nek 1:10; 9:10, Yer 32:20,21 16Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bireme kweyongera kubeera ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.#Zab 79:4, Kung 1:5; 2:15,16, Ez 36:4, Dan 11:45, Mi 6:16, Zek 8:3 17Kale kaakano, Ayi Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku lwo kusaasira kwo, Ayi Mukama, tunuulira awatukuvu wo awazise.#Kubal 6:25, Kung 5:18 18Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, olabe ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, naye kubanga ggwe okusaasira kwo kungi.#2 Bassek 19:16, Nek 9:19, Yer 25:29 19Ayi Mukama, wulira: Ayi Mukama, sonyiwa: ayi Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ayi Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.”#Zab 70:5, Yer 14:9
20Awo bwe nnali nga njogera, era nga nsaba, era nga njatula ebibi byange, n'ebibi by'abantu bange Isiraeri, era nga neegayirira Mukama, Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange:#Is 65:24 21awo bwe nali nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ssaddaaka ey'akawungeezi.#Kuv 29:39, 1 Bassek 18:36, Dan 8:16,18 22N'ayogera nange, n'agamba nti, “Ggwe Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n'okutegeera. 23Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere bye wayolesebwa.#Dan 10:11 24Ssabbiiti ensanvu (70) ze ziweereddwa abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu.#Nek 11:1, Yer 31:34, Bar 3:25,26, Beb 2:17 25Kale manya otegeerere ddala nga kasookedde ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo Ssabbiiti musanvu: era walibaawo Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62), ne kizimbibwa nate, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ebyo birikolebwa mu kiseera eky'okubonaabona.#2 Byom 36:23, Ezer 1:3, Zab 51:18 26Era Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62) bwe ziriggwaako, oyo eyafukibwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu. Enkomerero ye erijja ng'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzikiriza kwalagirwa.#Mak 13:2, Luk 19:43,44 27Omulangira alikola endagaano ennywevu n'abantu bangi okumala Ssabbiiti emu: mu makkati ga Ssabbiiti aliwera ssaddaaka n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, alissaako eby'emizizo, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erimutuukako.”#Is 10:23, Dan 11:36, Mak 13:14
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.