Danyeri 7
7
Danyeri byeyayolesebwa
(7:1—12:13)
Ekirooto n'Okwolesebwa kwa Danyeri okw'Ensolo Ennya
1Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Berusazza kabaka w'e Babbulooni, Danyeri n'aloota ekirooto era n'ayolesebwa ng'agalamidde ku kitanda kye: n'awandiika ekirooto kye. 2Danyeri n'agamba nti, “Mukwolesebwa kwange ekiro, nnalaba, empewo nga zikunta okuva ku njuyi zonna ennya, ne zisikuula ennyanja ennene.#Kub 7:1 3N'ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja, buli emu nga tefaanana ginnaayo.#Kub 13:1 4Eyasooka yali efaanana ng'empologoma, era ng'erina ebiwaawaatiro eby'empungu; bwe nali nkyatunula, ebiwaawaatiro byayo ne bigimaanyibwako, n'eyimusibwa okuva ku ttaka, n'eyimirira ku magulu abiri ng'omuntu, n'eweebwa omutima ogw'omuntu. 5Ate ne wavaayo ensolo endala, eyokubiri, eno yaliŋŋanga ddubu, era yali egalamidde ku luuyi lumu ng'esitusemu katono ku magulu gaayo ag'emabega, nga n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti, ‘Situka, olye ennyama ennyingi.’#Dan 2:39 6Oluvannyuma lw'ebyo nnendaba ensolo endala, nga eringa engo, yalina ebiwaawaatiro ebina eby'ekinnyonyi ku mabega gaayo. Era ensolo eyo yalina emitwe ena: n'eweebwa n'obuyinza okufuga.#Kub 13:2 7Oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo ey'okuna, ey'entiisa era ey'obuyinza, era ey'amaanyi amangi ennyo: yalina amannyo manene ag'ekyuma: n'erya n'ebetenta, n'erinnyirira ebyasigalawo. Yali ya njawulo ku nsolo ziri azagisooka: yalina amayembe kkumi (10).#Kub 11:17; 13:1 8Bwe nali nkyatunuulidde amayembe ago, ate laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne likuuliramu ddala amayembe asatu ku gali agalisookawo. Lyalina amaaso nga ag'omuntu, n'akamwa akoogera eby'okwegulumiza.#Kub 13:5,6 9Bwe nali nga nkyatunula, ne ndaba entebe ez'obwakabaka nga ziteekebwawo. Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviiri ez'oku mutwe gwe nga njeru ng'ebyoya by'endiga ebirungi. Entebe ye ey'obwakabaka yali nnimi za muliro, ne nnamuziga zaayo muliro ogwaka.#1 Bassek 22:19, Zab 90:2, Ez 1:16; 10:9, Mat 19:28; 28:3, Kub 1:14; 20:4 10Omugga gw'omuliro ne gukulukuta nga guva w'ali. Abantu enkumi n'enkumi baali awo okumuweereza, n'emitwalo n'emitwalo nga bayimirira mu maaso ge. Okuwozesa emisango ne kugulwawo, ebitabo ne bibikkulwa.#Zab 50:3, Beb 12:22, Kub 5:11; 11:18; 20:12 11Bwe nali nga nkyatunula, ne mpulira ebigambo eby'okwegulumiza ejjembe bye lyayogera, okutuusa ensolo bwe yattibwa, n'esuulibwa mu muliro, n'ezikirizibwa.#Kub 13:5,6; 19:20; 20:10 12Ensolo endala zo zagibwako obuyinza bwazo, kyokka obulamu bwazo ne bwongerwayo ekiseera ekigere. 13Mu kwolesebwa kwe nnafuna ekiro, nnalaba eyafaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ajja n'ebire eby'omu ggulu, n'agenda eri Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda, nayanjulibwa mu maaso ge.#Mak 13:26; 14:62, Yok 5:27; 12:34, Kub 1:7,13; 14:14 14N'aweebwa obuyinza, n'ekitiibwa, n'obwakabaka, abantu bonna, n'ab'amawanga gonna n'ab'ennimi zonna, bamuweerezenga: okufuga kwe kwa mirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”#Zab 110:1,2, Is 9:6,7, Dan 2:44, Mat 11:27; 28:18, Luk 1:33, Kub 11:15
Amakulu g'Ekirooto
15“Nange Danyeri, omwoyo gwange ne gunakuwala n'enneeraliikirira olw'ebyo bye nnayolesebwa. 16Ne nsemberera omu ku abo abaali bayimiridde okumpi, ne mmubuuza amakulu g'ebyo byonna. Awo n'antegeeza amakulu gaabyo. 17Ensolo ezo ennene, ezaali ennya, be bakabaka abana, abaliva mu nsi. 18Naye abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo baliweebwa obwakabaka, ne buba bwabwe emirembe gyonna.#Is 60:12-14, 1 Kol 6:2, Kub 2:26; 20:4; 22:5 19Awo ne njagala okumanya amazima agafa ku nsolo ey'okuna, etaafaanana ziri zonna, ey'entiisa ennene, amannyo gaayo nga ga kyuma, n'enjala zaayo nga za kikomo, era eyalya, n'emenyaamenya, n'erinnyirira ebyasigalawo n'ebigere byayo. 20Era ne njagala okumanya ku by'amayembe ekkumi (10) agaali ku mutwe gwayo, n'eddala eryamera, ne likuuliramu ddala asatu (3), lyalina amaaso, n'akamwa akayogera eby'okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga gali gonna. 21Awo bwe nnali nga nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n'abatukuvu ba Katonda, ne libawangula,#Kub 11:7; 13:7 22okutuusa Oyo eyabeerawo okuva edda n'edda lwe yajja, n'asala musango, abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo ne bagusinga, era ekiseera ne kituuka, abatukuvu ne baweebwa obwakabaka. 23Awo nantegeeza nti, Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obufuga ensi zonna, era bulizisambirira, n'ebuzimenyamenya; 24ate amayembe ago ekkumi, be bakabaka ekkumi (10) abaliva mu bwa kabaka obwo, naye walisitukawo omulala alibaddirira, aliba wa njawulo, era aliggyawo ba kabaka basatu.#Kub 17:12 25Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo ali waggulu ennyo, era aliyigganya abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Era aligezaako okukyusa ennaku enkulu n'amateeka, abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera ne biseera n'ekitundu kye kiseera bwe biriggwaawo.#Dan 11:36; 12:7, Kub 12:14 26Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n'obuyinza bwe bulimuggyibwako ne busaanyizibwawo ddala.#Dan 7:10 27Olwo obwakabaka n'okufuga n'ekitiibwa eky'obwakabaka bwonna ku nsi, biriweebwa abatukuvu b'Oyo ali waggulu ennyo. Obwakabaka bw'Oyo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'amatwale gonna galimuweereza era galimugondera.#Dan 8:27, Luk 2:19,51 28Ebigambo ebyo we bikoma wano. Era nze Danyeri, ebirowoozo byange byantiisa nnyo, ne nkyuka ne mu ntunula, naye ebigambo ebyo ne mbikuuma mu mutima gwange.”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.