Ves al contingut

2 Timoseewo 3

3
Ennaku ez'oluvannyuma mbi
1Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiro eby'okulaba ennaku. #1 Tim 4:1 2Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, si batuukirivu, #Bar 1:29 3abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, 4ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda.#Bag 3:19 5Balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo, abantu bwe batyo obakubanga amabega.#Mat 7:15,21, Bar 2:20, Tit 1:16 6Kubanga mu abo mulimu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,#Mat 23:14, Tit 1:11 7abayiga bulijjo, naye ne batayinza ennaku zonna okutuuka ku kutegeerera ddala amazima.#2 Tim 2:25 8Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; abayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza.#Kuv 7:11,22, 1 Tim 6:5; 1:12
9Naye tebalyeyongera wala nnyo, kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwategeerebwa. 10Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange, 11okuyigganyizibwa kwange, n'okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, ne mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali, era Mukama waffe yandokola mu byonna.#Bik 13:50; 14:5,19, Zab 34:19 12Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga.#Mat 16:24, Bik 14:22 13Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu kukola obubi, nga balimba era nga balimbibwa.#1 Tim 4:1 14Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali;#2 Tim 2:2 15era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu kulokoka olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.#Yok 5:39, Zab 119:99 16Ebyawandiikibwa byonna ebitukuvu birina okuluŋŋamya kwa Katonda era bigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu:#2 Peet 1:19-21, Bar 15:4 17omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.#1 Tim 6:11