2 Timoseewo 4
4
Okubuulira Enjiri n'obumalirivu
1Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;#Bik 10:42, 1 Peet 4:5, Bar 14:9,10 2buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n'eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.#Bik 20:20,31 3Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;#2 Tim 1:13, 1 Tim 4:1 4baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.#1 Tim 4:7, 2 Bas 2:11 5Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'Enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.#2 Tim 2:3, Bef 4:11 6Kubanga nze kaakano nsemberedde okufa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.#Baf 2:17 7Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye. 8Kaakano ekisigaddeyo, engule enterekeddwa ey'obutuukirivu, Mukama waffe gy'alimpeera ku Lunaku luli, asala emisango egy'ensonga, so si nze nzekka, naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.#2 Tim 2:5, Yak 1:12, 1 Peet 5:4, Kub 2:10
Okumaliriza
9Fuba okujja gye ndi mangu,#2 Tim 1:4 10kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala eby'ensi eno, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke n'agenda e Ggalatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya.#Bak 4:14 11Lukka ye ali awamu nange yekka. Laba Makko, mujje naye; kubanga angasa olw'okuweereza.#Bik 15:37, Bak 4:10 12Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso.#Bik 20:4, Bef 6:21, Bak 4:7 13Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba. 14Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi, Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali.#1 Tim 1:20, 2 Sam 3:39, Zab 28:4; 62:12, Nge 24:12 15Oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe. 16Mu kuwoza kwange okw'olubereberye tewali yannyamba, naye bonna banjabulira, nsaba baleme okukibalirwa.#2 Tim 1:15 17Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n'ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire, bwentyo ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.#Zab 22:21, Dan 6:21-28, Bik 23:11; 27:23 18Mukama waffe anaamponyanga mu buli kikolwa ekibi, era anandokolanga olw'obwakabaka bwe obw'omu ggulu, aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe Amiina.
19Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo.#Bik 18:2, 2 Tim 1:16 20Erasuto yasigala mu Kkolinso, naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde.#Bik 19:22; 20:4; 21:29 21Fuba okujja ebiro eby'obutiti nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna.
22Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.