Ves al contingut

2 Timoseewo 2

2
Okubeeranga omulwanyi omwesigwa owa Kristo Yesu
1Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu. 2Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala. 3Bonaaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu.#2 Tim 1:8; 4:5 4Tewali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika okuba omulwanyi. 5Naye era omuntu bweyetaba mu mbiro ez'empaka, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.#2 Tim 4:8 6Omulimi akola emirimu n'amaanyi yasaana okusooka okutwala ku bibala.#1 Kol 9:7,10 7Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna. 8Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera;#Bar 1:3; 2:16, 1 Kol 15:4,20, 2 Sam 7:12 9Enjiri eyo gye mbonaaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa.#Bef 3:1,13, Baf 1:12; 2:17 10Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune okulokoka okuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.#Bak 1:24 11Ekigambo kino kyesigwa nti, “Oba nga twafa naye, era tulibeera balamu wamu naye. #2 Kol 4:11 12Bwe tugumiikiriza, era tulifugira wamu naye; bwe tumwegaana, era naye alitwegaana. #Mat 10:33 13Bwe tutabeera beesigwa, ye abeera mwesigwa, kubanga tayinza kwegaana kyali.” #Bar 3:2,3, Kubal 23:19
Timoseewo okuweererezanga mu butukuvu
14Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.#1 Tim 6:4, Tit 3:9 15Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima.#1 Tim 4:6, Luk 12:42, Tit 2:7,8 16Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga, kubanga bireetera abantu kweyongera bweyongezi mu butatya Katonda.#1 Tim 4:7 17Ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo; ku abo ye Kumenayo ne Fireeto;#1 Tim 1:20 18kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe. 19Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti, “Mukama waffe amanyi ababe,” era nti, “Buli ayatula erinnya lya Mukama, yeewalenga obutali butuukirivu.” #Kubal 16:5,26, Yok 10:14, Is 26:13; 28:16,17 20Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era mubaamu n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa.#1 Kol 3:12 21Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.#2 Tim 3:17 22Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.#1 Tim 6:11; 1:5 23Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana.#1 Tim 4:7 24Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza,#Tit 1:7 25abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima,#1 Tim 2:4 26era balyoke badduke okuva mu mutego gwa Setaani, oyo eyabanyaga okukolanga by'ayagala.