2 Ekyebyomumirembe 8
8
Ebirala Sulemaani bye yakola (8:1-16)
1Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyaggwako, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye,#1 Bassek 9:10-28 2Sulemaani n'azimba buggya ebibuga, Kulamu bye yamuwa, n'atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3Awo Sulemaani n'alumba ekitundu ky'e Kamasizoba n'akiwamba. 4N'azimba ekibuga Tadumoli mu ddungu. N'azimba mu Kamasi ebibuga byonna, n'abifuula eby'okuterekangamu ebintu bye. 5Era n'azimba ebibuga Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, n'abiteekako bbugwe n'enzigi n'ebisiba; 6n'azimba ne Baalasi n'ebibuga byonna eby'okuterekangamu ebintu bye yalina, n'ebibuga byonna bye yakuumirangamu amagaali ge n'ebibuga ebyabeerangamu abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni n'awalala wonna mu matwale ge. 7Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi, n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri; 8abataazikirizibwa abaana ba Isiraeri nga bawamba ensi ya Kanani, ku bazzukulu baabwe Sulemaani mwe yajjanga abaddu ne leero. 9Naye ku baana ba Isiraeri, Sulemaani teyafuulako baddu ba kukola mirimu gye, wabula baali basajja balwanyi mu ntalo, bakulu ba maggye, abakulira abavuzi b'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi ze 10Kabaka Sulemaani yalina abaami abakulu bibiri mu ataano (250) abaafuganga abantu. 11Awo Sulemaani n'aggya mukazi we, muwala wa Falaawo, mu kibuga kya Dawudi, n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira, kubanga yagamba nti, “Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ekifo kyonna ekyatuukibwamu essanduuko ya Mukama kitukuvu.”
12Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso Yeekaalu.#2 Byom 4:1; 15:8 13Yabiwangayo nga bwe kyetaagibwanga buli lunaku, ng'awaayo ng'Amateeka ga Musa bwe galagira okubiwaayo ku Ssabbiiti, ne mu kuboneka kwa buli mwezi, ne ku mbaga esatu ezaalagirwa buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, ku mbaga ey'Amakungula, ne ku mbaga ey'ensiisira.#Kubal 28:3,9,11, Ma 16:16 14Sulemaani nnakola nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, n'ateekawo empalo za bakabona ez'okuweereza kwabwe, n'ez'Abaleevi ze bakolerangako omulimu gwabwe ogw'okuyimba, n'okuweereza nga bayamba bakabona, nga bwe kyabanga kyetaagibwa buli lunaku. N'ateekawo n'abakuumi b'Emiryango mu mpalo ku buli mulyango. Bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.#Kubal 18:2, 1 Byom 23:6 15Bakabona n'Abaleevi tebaava ku kiragiro kya kabaka Dawudi ekikwata ku kintu kyonna oba ku bintu ebyaterekebwa. 16Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna, okuviira ddala ku lunaku lwe baasima omusingi gw'Ennyumba ya Mukama, okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyumba ya Mukama n'emalirizibwa.
Enkolagana ya Sulemaani n'abantu abalala (8:17—9:31)
17Awo Sulemaani n'agenda e Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku lubalama ly'ennyanja, mu nsi ya Edomu. 18Kulamu n'amuweereza amaato n'abalunnyanja. Ne bagenda wamu n'abaweereza ba Sulemaani e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu ataano (450), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.