2 Ekyebyomumirembe 7
7
Okutukuzibwa kwa Yeekaalu
(1 Bassek 8:62-66)
1 #
2 Byom 5:13,14 Awo Sulemaani bwe yamala okusaba omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.#1 Bassek 8:54; 18:38, 1 Byom 21:26 2Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kijjudde mu nnyumba ya Mukama. 3Awo abaana ba Isiraeri bonna bwe balaba omuliro nga gukka, n'ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde mu Yeekaalu, ne bavuunama ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti, “mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” 4Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaaayo ssaddaaka eri Mukama.#1 Bassek 8:62,63 5Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente ezawera emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Awo kabaka n'abantu bonna ne bawaayo ennyumba eri Katonda. 6Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n'Abaleevi nabo ne bayimirira nga babatunuulidde, nga bakutte ebivuga Dawudi kabaka bye yakola okutenderezanga Mukama, ne bayimba oluyimba lwa Dawudi olw'okutendereza Mukama nga bagamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Bakabona ne bafuuwa amakkondeere nga Abaisiraeri bonna bayimiridde.#Kubal 10:10, 1 Byom 15:16, 2 Byom 5:12 7Sulemaani n'atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yali akoze kyali tekigyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu.#1 Bassek 8:64-66 8Mu kiseera ekyo, Sulemaani n'Abaisraeri bonna ne bakwata embaga ey'ennaku musanvu, ekibiina kyali ekinene nnyo, abantu baava awayingirirwa e Kamasi okutuukira ddala ku kagga ak'e Misiri. 9Awo ku lunaku olw'omunaana ne baba n'okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga baali bamaze okukwata ennaku musanvu ez'okuwaayo ekyoto, n'okukwata ennaku endala musanvu ez'embaga.#Leev 23:36 10Ku lunaku olw'abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu, Sulemaani n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe, nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
Mukama alabikira Sulemaani omulundi ogwokubiri
(1 Bassek 9:1-9)
11Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka, era ng'amaliriza okuteekamu byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okuteeka mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye,#1 Bassek 9:1-9 12Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo era nzikiriza ekifo kino okuba ennyumba yange ey'okumpeerangamu ssaddaaka.#Ma 12:5 13Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;#2 Byom 6:26,28 14abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale nnaawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.#2 Byom 12:7 15Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.#2 Byom 6:40 16Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo ebbanga lyonna.#Ma 12:5 17Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'ebiragiro byange; 18kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti, ‘Tewaabulenga musajja okuva muzzadde lyo afuga Isiraeri.’#1 Bassek 8:25, 2 Byom 6:16 19Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mu basinza:#Leev 26:14, Ma 28:15 20awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'Erinnya lyange ndigisaanyaawo, era ndigifuula olufumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.#Ma 28:37; 29:28 21N'ennyumba eno ey'ekitiibwa ennyo, buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti,‘ Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?’ 22Kale banaddangamu nti, ‘Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abatuusako obubi buno bwonna.’ ”#Ma 29:24, Yer 22:8,9
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.