2 Ekyebyomumirembe 9
9
Kabaka omukazi ow'e Seeba akyalira Sulemaani
(1 Bassek 10:1-13)
1Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja e Yerusaalemi amugeze, ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu, yajja n'abaddu bangi nnyo, n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka ewa Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna bye yalina ku mutima gwe.#1 Bassek 10:1-13, Mat 12:42 2Awo Sulemaani n'amuddamu byonna bye yamubuuza: tewali kintu na kimu ekyakaluubirirwa Sulemaani okumunnyonnyola. 3Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba, 4n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, n'ennyambala yaabwe, n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe yalinnyangako okugenda mu nnyumba ya Mukama; kale ne yeewuunya nnyo, n'awuniikirira. 5N'agamba kabaka nti, “Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange ku bikolwa byo n'amagezi go, kyali kituufu. 6Nange sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'amaaso gange. Byenawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'amagezi go, osinga ettutumo lye nnawulira. 7Abasajja bo nga balina omukisa, abaddu bo bano nga beesiimye, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira eby'amagezi by'oyogera. 8Mukama Katonda wo atenderezebwe, eyakusiima naakuteeka ku ntebe okuba kabaka ofuge mu linnya lye, kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri, abantu be, era ayagala okubakuuma babeerewo ennaku zonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okuume amateeka n'amazima.”#1 Byom 29:23, 2 Byom 2:11 9Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: era tewaabaawo bya kaloosa eby'enkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Sebba bye yatonera kabaka Sulemaani. 10Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleeta zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.#2 Byom 8:18 11Kabaka n'akozesa embaawo ez'emitoogo okuzimba amadaala g'ennyumba ya Mukama, n'ennyumba ya kabaka, era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Waali tewalabikanga bintu biringa ebyo mu Yuda. 12Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, na buli kye yasaba kyonna, nga tobaliddeeko ebyo ye bye yamuwa olw'ebirabo naye bye yali amutonedde. Awo kabaka omukazi n'abaddu be ne baddayo mu nsi y'ewaabwe.
Obugagga bwa Sulemaani
(1 Bassek 10:14-29)
13Zaabu Sulemaani gwe yafunanga mu mwaka ogumu yawezanga obuzito talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),#1 Bassek 10:14-28 14nga tobaliddeeko oyo abasuubuzi n'empooza ku bitundibwa gwe baaleetanga. Bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abafuzi b'ebitundu bya Isiraeri, nabo ne baleeteranga Sulemaani zaabu n'effeeza.#Zab 72:10 15Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) mu zaabu, nga buli emu ya zaabu aweza sekeri lukaaga (600). 16Era n'aweesa engabo entono bisatu (300) mu zaabu, nga buli ngabo ya zaabu wa sekeri bisatu (300). Kabaka zonna n'aziteeka kisenge ekiyitibwa, Ekibira kya Lebanooni. 17Kabaka era n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agibikkako zaabu omulungi ennyo. 18Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe, ekirinnyibwako ebigere kyali kya zaabu, era nga kisibiddwa ku yo. Entebe era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi, era ku buli ludda lw'awateekebwa omukono, ku mabbali waaliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde. 19N'ebifaananyi by'empologoma eziyimiridde ebirala kkumi na bbiri, byali biteekeddwa eruuyi n'eruuyi ku buli nkomerero ya madaala ago omukaaga. Waali tewabangawo ntebe yonna ya kabaka efaanana ng'eno. 20Ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoose. Mu biseera bya Sulemaani, ffeeza teyatwalibwanga nga ekintu eky'omuwendo. 21Kabaka yalina empingu y'amaato eyaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; empingu yakomangawo mulundi gumu buli myaka esatu ng'ereese zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne zimuzinge.#2 Byom 20:36,37 22Bwatyo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi. 23Bakabaka bonna ku nsi bajjanga okulaba Sulemaani, okuwulira amagezi ge Katonda ge yali amuwadde. 24Buli muntu eyajjanga gyali buli mwaka ng'amuleetera ekirabo: ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, ebyambalo n'eby'okulwanyisa, n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu. 25Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya (4,000) eby'embalaasi n'amagaali gaazo, abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga eby'amagaali, abamu kubo nga babeera naye mu Yerusaalemi.#2 Byom 1:14 26Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo eya Misiri.#1 Bassek 4:21, Zab 72:8 27Mu biseera bye Kabaka y'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule olw'obungi bwagyo n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu bya Yuda.#2 Byom 1:15 28Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.#2 Byom 1:16
Okufa kwa Sulemaani
(1 Bassek 11:41-43)
29 #
1 Bassek 11:41-43
Ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani bye yakola, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu byalangibwa Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi era kwali kukwata ne ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati.#1 Bassek 11:29, 1 Byom 29:29, 2 Byom 12:15; 13:22 30Sulemaani yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka ana. (40) 31Sulemaani naafa n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.