Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 6

6
Okusaba kwa Sulemaani
1 # 1 Bassek 8:12-50 Awo Sulemaani n'asaba ng'agamba nti, “Mukama wasalawo okutuulanga mu kizikiza ekikutte.#Beb 12:18 2Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.” 3Awo kabaka n'akyuka n'atunuulira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, ekyali kiyimiridde awo n'abasabira omukisa. 4N'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isiraeri, atuukiriza ekyo kye yasuubiza Dawudi kitange, bwe yamugamba nti, 5‘kasookedde nzigya bantu bange mu nsi y'e Misiri, sirondanga kibuga na kimu kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri, okuzimbira omwo ennyumba, nange mbeerenga omwo, so sirondanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. 6naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu erinnya lyange; era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.’#1 Sam 16:11-13, Zab 78:68 7Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.#1 Byom 17:1; 28:2 8Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti, ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira ennyumba. 9Naye si gwe ojja okunzimbira ennyumba, wabula mutabani wo ggwe wennyini gw'ozaala y'alizimbira ennyumba.’ 10Era Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nze nsikidde kitange Dawudi, era ntudde ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba. 11Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yakola n'abaana ba Isiraeri.”#2 Byom 5:10
12Awo Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kiri awo, n'agolola emikono gye. 13kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, ng'akitadde wakati mu luggya. N'alinnya waggulu ku kituuti ekyo, n'afukamira mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.#1 Bassek 8:54 14n'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; atuukiriza endagaano ye era akwatirwa ekisa abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna. 15Otuukiriza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kye wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza olwaleero.#1 Byom 22:9,10 16Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza ekyo kye wasuubiza omuddu, Dawudi kitange, bwe wamugamba nti, ‘tewaabulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri, abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwo gatambuliddemu mu maaso gange.’#2 Byom 7:18, Zab 132:12 17Kale nno, ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, kye wagamba omuddu wo Dawudi. 18Naye mazima ddala, Katonda oyinza okutuula n'abantu mu nsi? Laba, eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye oyinza otya ggwe okugiggyamu?#Kub 21:3 19Naye ayi Mukama Katonda wange, wulira okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, kw'asaba mu maaso go: 20amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo Erinnya lyo. Kale owulirenga okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'otunuulira ekifo kino.#2 Byom 6:40 21Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino: wuliranga ggwe ng'osinzira ggulu, mu kifo kyo ky'obeeramu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga. 22Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne kimugwanira okulayira okukakasa oba nga talina musango, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno: 23kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaddu bo, n'obonereza asobeza, ne wejjeereza atalina musango. 24Abantu bo Isiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe, kubanga bakwonoonye naye ne bakyuka nate ne beenenya, ne basaba ne beegayirira mu maaso go mu nnyumba eno: 25kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe. 26Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba n'etetonnya, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, ng'omaze okubabonereza:#1 Bassek 17:1, 2 Byom 7:13, Luk 4:25 27kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo, abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eggolokofu lye bateekwa okutambulirangamu, olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo, gye wawa abantu bo okuba obusika bwabwe emirembe gyonna. 28Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala, bukuku, enzige oba kawuka ku birime; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okw'engeri yonna; 29bwe wanaabangawo okusaba oba okwegayirira kwonna okunaakolwanga omuntu yenna, oba okw'abantu bo bonna Isiraeri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze ng'atunuulidde ennyumba eno: 30kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'osonyiwa, era n'osasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe, ggwe wekka omanyi emitima gy'abaana b'abantu; 31balyoke bakutyenga era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe. 32Era mu ngeri y'emu munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala, ng'awulidde obukulu bwo, n'obuyinza bwo, n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'asaba nga atunuulidde ennyumba eno;#Yok 12:20 33owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo n'okolera munnaggwanga oyo byonna byakusabye, olwo amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, era bakutye ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye ya kukusinzizangamu. 34Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe yonna gy'onobasindikanga, ne bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: 35kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe n'obalwanirira. 36Bwe banaakwonoonanga, kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira, n'oleka abalabe baabwe okubawangula n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'ewala oba ey'okumpi; 37naye bwe beennyamiriranga mu mitima gyabwe mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakyuka ne beenenya, ne bakwegayiririra mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona ne tukuvako ne tukola ebitasaana;’ 38bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna nga bali mu nsi gye baatwalibwa nga basibe, ne bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye weeroboza, n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo; 39kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu n'obaddiramu, n'osonyiwa bantu bo abakwonoonye. 40Kale, ayi Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gatunuulenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.#2 Byom 6:20; 7:15, Nek 1:6,11, Zab 130:2 41Kale nno, ayi Mukama Katonda, situka ojje oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ayi Mukama Katonda, bawe omukisa, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.#1 Byom 28:2, Zab 132:8,9, Is 61:10 42Ayi Mukama Katonda, tolekanga oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okwagala kwo eri Dawudi omuddu wo.”#Zab 132:1,10