Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 5

5
1Bw'atyo Sulemaani n'amaliriza omulimu gwonna ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga: effeeza ne zaabu, n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.#1 Bassek 7:51
Yeekaalu etukuzibwa (5:2—7:22)
2 # 1 Bassek 8:1-9, 1 Byom 15:29 Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri, n'abakulu b'ebika bonna, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja b'abaana ba Isiraeri, bagende e Yerusaalemi, ba ggyeyo essanduuko ey'endagaano ya Mukama okuva mu kibuga kya Dawudi Sayuuni. 3Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira ewa kabaka, ku mbaga ey'Ensiisira mu mwezi ogw'omusanvu. 4Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.#Kubal 1:50, 1 Bassek 8:3 5Ne bagireeta, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu bakabona n'Abaleevi ne babisitula. 6Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna enkya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne babeera mu maaso g'essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez'endiga n'ente, nnyingi nnyo ezitaabalibwa muwendo. 7Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, munda mu nnyumba, mu kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.#Kub 11:9 8Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyayanjala ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo. 9Emisituliro gyayo gyali miwanvu ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu mu maaso g'ekifo Ekitukuvu Ennyo asobola okulaba emisa gyazo, naye ng'ali ebweru tagiraba. Ekyali eyo ne leero.#1 Bassek 8:8 10Mu Ssanduuko temwali kintu kirala wabula ebipande ebibiri, Musa bye yateeka omwo bwe yali ku lusozi Kolebu, Mukama gye yalagaanira endagaano n'abaana ba Isiraeri, nga bavudde mu Misiri.#Ma 10:2,5, 2 Byom 6:11 11Bakabona bonna, awatali kufa ku mpalo zaabwe, baali beetukuzizza, ne bava mu kifo Ekitukuvu.#1 Bassek 8:10, 1 Byom 24:1 12Abaleevi bonna abayimbi: Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, nga bali ne bakabona kikumi mu abiri (120) nga bafuuwa amakkondeere.#1 Byom 15:16,24; 25:1-4, 2 Byom 7:6, Zab 150:3-5 13Awo olwatuuka ab'ebivuga n'abayimbi ne bakwanya wamu amaloboozi, nga batendereza, nga beebaza Mukama. Ne basaakaanyiza wamu amaloboozi gaabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga bagamba nti, “Mukama mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” Awo ennyumba ya Mukama n'ejjula ekire,#1 Bassek 8:10 14bakabona ne batasobola kusigalamu okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.#Kuv 40:35, 1 Bassek 8:11, 2 Byom 7:2, Ez 10:3,4, Kub 15:8