Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 4

4
Ebintu by'omu Yeekaalu
(1 Bassek 7:23-51)
1Kabaka Sulemaani n'akola ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono abiri (20), n'obugazi bwakyo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi (10).#1 Bassek 16:14, 2 Byom 7:7; 8:12; 15:8, Ez 43:13-17 2Era n'akola ne Tanka ennene enneekulungirivu ey'ekikomo ng'eweza emikono kkumi (10) okuva ku mugo okutuuka ku mugo, n'obugulumivu bwayo emikono etaano; obwetooloovu bwo mugo gwayo nga buweza emikono asatu (30).#1 Bassek 7:23-26 3Okwetooloola omugo ebweru wagwo gwaliko embu bbiri ez'ebifaananyi by'ente, nga byaweesebwa wamu nagwo. 4Etanka eyo yatuuzibwa ku bifaananyi by'ente eby'ekikomo kkumi na bbiri (12), ebisatu nga bitunuudde obukiikakkono, ebisatu ebirala nga bitunuudde ebugwanjuba, ebisatu ebirala nga bitunuudde obukiikaddyo, n'ebisatu ebirala nga bitunuulidde ebuvanjuba. Etanka yatuula ku zo waggulu, nga emikira gyabyo gyonna gitunuudde munda. 5Omubiri gwa Tanka gwali guweza oluta lumu. Omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, era nga gweyanjuluza ng'ekimuli kyamalanga. Etanka nga egendamu ensuwa za mazzi enkumi ssatu (3,000). 6Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'okwolezaangamu: etaano n'aziteeka ku mukono ogwa ddyo ogwa Yeekaalu, n'etaano ku gwa kkono, ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye amazzi g'omu Tanka gaali ga bakabona ag'okunaaba.#1 Bassek 7:38,39 7N'akola ebikondo by'ettaala kkumi bya zaabu, nga bwe byali biteekwa okukolebwa n'abiteeka mu Yeekaalu: ebitaano ku mukono ogwa ddyo n'ebitaano ebirala ku gwa kkono.#Kuv 25:35-39, 1 Bassek 7:49, 2 Byom 4:20 8Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu Yeekaalu: etaano n'aziteeka ku luuyi olwa ddyo n'etaano endala ku lwa kkono. N'akola n'ebibya kikumi (100) bya zaabu.#1 Bassek 7:48, 2 Byom 4:19 9Era n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, enzigi zaazo n'azibikkako ekikomo.#1 Bassek 6:36; 7:12, 2 Byom 6:13 10N'ateeka etanka ennene ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo olw'ebuvanjuba.#1 Bassek 7:39 11#1 Bassek 7:40-50Kulamu n'akola entamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kulamu n'amaliriza okukola omulimu gw'ennyumba ya Katonda ogw'amuweebwa kabaka Sulemaani:#1 Bassek 7:13,14 12empagi bbiri, n'emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi; n'ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli empagi; 13amakomamawanga bina (400) ag'ekikomo agateekeddwa mu mbu bbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi.#1 Bassek 7:20 14N'akola ebituuti kkumi (10), n'ebbenseni ku bituuti ebyo,#1 Bassek 7:38,39 15etanka ennene, n'ente kkumi na bbiri (12) kweyatuuzibwa; 16entamu, n'ebijiiko, n'amakato ge bakwasisa ennyama. Kulamu n'akolera Sulemaani ebintu byonna ebyo mu kikomo ekizigule eby'okukozesanga mu nnyumba ya Mukama.#1 Byom 28:17 17Ebintu ebyo byonna kabaka yabikolera mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda. 18Sulemaani n'akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo, n'obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwategeerekeka. 19Sulemaani n'akola ebintu byonna eby'okukozesanga mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwateekebwanga emigaati egy'okulaga;#2 Byom 4:8 20n'ebikondo n'ettaala zaabyo, mu zaabu omulongoose, zaakirenga mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu ng'ekiragiro bwe kyali;#2 Byom 4:7 21n'ebitimbibwa ebikoleddwa ng'ebimuli, ne ttaala, ne makansi, nga bya zaabu omulungi ennyo; 22n'ebisalako ebisiriiza, n'ebibya, n'ebijiiko, n'essowaani nga bya zaabu omulongoose. Enzigi z'ennyumba ez'ebweru, n'enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo Ekitukuvu Ennyo nazo zaali za zaabu.