Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 3

3
Sulemaani azimba Yeekaalu (3:1—5:1)
1Awo Sulemaani n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama e Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe. Dawudi yali akiteeseteese olw'ennyumba ya Mukama. Ekifo ekyo kyali gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.#Lub 22:2,14, 1 Byom 21:15,18,28 2Sulemaani yatandika okuzimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. 3Ennyumba ya Mukama Sulemaani gye yapima yali ya mikono nkaaga (60) obuwanvu ne mikono abiri (20) obugazi.#1 Bassek 6:2,3 4Ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, ekipimo kyakyo kyali kya bugazi bwa mikono abiri (20) ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali, n'obugulumivu bwakyo emikono kikumi mu abiri (120). Ekisenge kyakyo munda y'akibikkako zaabu omulongoose. 5Ekisenge ekinene y'akibikkako embaawo ez'emiberosi, ze yabikkako zaabu omulongoose, n'akolako ebifaananyi eby'enkindu n'emikuufu.#1 Bassek 6:17,29,32 6Nayooyoota ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi ne zaabu yaggyibwa e Paluvayimu. 7Ebisenge by'ennyumba, emirabba gyayo, n'emiryango n'abibikkako zaabu. Ku bisenge n'akolako bakerubi. 8N'azimba ekifo eky'omunda Ekitukuvu Ennyo, ng'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bw'ennyumba : emikono abiri (20). N'akibikkako zaabu omulongoose aweza talanta lukaaga (600).#1 Bassek 6:16 9Obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu ataano (50). Ekisenge ekya waggulu nakyo n'akibikkako zaabu. 10Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'ekyuma ne bababikkako zaabu.#1 Bassek 6:23-28 11Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi obuwanvu bwabyo bwali emikono abiri (20), ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro kye eky'okubiri nakyo bwe kityo nga kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. 12Ekiwawaatiro kya kerubi omulala nakyo kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka nakyo ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro kye ekirala nakyo nga kiweza emikono etaano, era nga nakyo kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. 13Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi nga byanjuluziddwa byali biweza emikono abiri (20). Baali bayimiridde ku bigere byabwe, nga batunuulidde wakati mu ennyumba. 14N'akola eggigi mu lugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olutwakaavu ne mu bafuta ennungi, n'alikolerako bakerubi.#Kuv 26:31, Mat 27:51, Beb 9:3 15Mu maaso g'ennyumba n'assaawo empagi bbiri, obugulumivu bwazo, emikono asatu mu etaano (35), era nga buli emu eriko omutwe gwa buwanvu bwa mikono etaano.#1 Bassek 7:15-20, 2 Bassek 25:17 16Ku ntiko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi by'emikuufu ne by'amakomamawanga ag'ekikomo kikumi (100) n'agateeka ku mikuufu. 17N'asimba empagi ezo mu maaso ga Yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'ey'oku mukono gwa kkono n'agituuma Bowaazi.#1 Bassek 7:21#3:17 Yakini Ekigambo kino mu Lwebbulaniya kitegeeza “Katonda akola.”#3:17 Bowaazi Mu Lwebbulaniya kitegeeza “Katonda akola n'amaanyi ge.”