Ves al contingut

1 Samwiri 7

7
1Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.#2 Sam 6:3
Samwiri alamula Isiraeri
2Okuva ku lunaku essanduuko ya Mukama, lwe y'abeera mu Kiriyasuyalimu, wayitawo ekiseera kiwanvu, gyali emyaka abiri (20), n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne bakaabirira Mukama nga bamunoonya. 3Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti, “Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abalala ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka, naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.”#Lub 35:2, Ma 6:13; 30:2-10, Yos 24:14,23, Balam 2:13, 1 Bassek 8:48, 2 Byom 19:3; 30:19, Es 7:10, Is 55:7, Yo 2:12,13, Mat 4:10, Luk 4:8 4Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.
5Awo Samwiri n'ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isiraeri yenna bajje e Mizupa, nange ndibasabira eri Mukama.”#Balam 20:1, 1 Sam 10:17 6Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa mu maaso ga Mukama, era ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti, “Twasobya ku Mukama.” Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri Mizupa.#Balam 10:10, 2 Sam 23:16 7Awo Abafirisuuti bwe baawulira ng'abaana ba Isiraeri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ne bajja okulumba Isiraeri. N'abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 8Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti, “Tolekerawo kukaabirira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.”#1 Sam 12:23 9Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama; Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri, era Mukama n'amuddamu.#Zab 99:6, Yer 15:1 10Awo Samwiri bwe yali ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri; naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku Bafirisuuti ku lunaku olwo n'abatiisa nnyo ne batabukatabuka ne badduka mu maaso g'abaana ba Isiraeri.#Yos 10:10, 1 Sam 1:10, Zab 18:13 11Abasajja ba Isiraeri ne bava mu Mizupa ne bawonderera Abafirisuuti ne bagenda nga babatta okutuuka e Besukali. 12Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti, “Okutuusa kaakano Mukama atubedde.”#Lub 28:18, Yos 24:26, 1 Sam 4:1 13Abafirisuuti ne bawangulwa bwe batyo, ne bataddayo lwa kubiri kulumba Isiraeri. Era omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.#Balam 13:1, 1 Sam 9:16; 13:5; 31:1 14Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Baisiraeri, ne bibaddira, okuva ku Ekuloni okutuuka e Gaasi. Bwe batyo Abaisiraeri ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafirisuuti. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abaisiraeri n'Abamoli. 15Samwiri n'alamulira Isiraeri ennaku zonna ez'obulamu bwe.#1 Sam 7:6 16Buli mwaka neyeetooloolanga ng'agenda e Beseri, Girugaali ne Mizupa; n'alamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonna. 17N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n'alamulira eyo Isiraeri, n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.#Balam 21:4, 1 Sam 1:19; 14:35