Ves al contingut

1 Samwiri 6

6
Okuzzibwayo kw'essanduuko y'endagaano
1Essanduuko ya Mukama yamala emyezi musanvu (7) ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti. 2Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Mukama? Mututegeeze tunagiweereza naki okugizaayo mu kifo kyayo.”#Kuv 7:11, Ma 18:10,14, Dan 2:2; 5:7 3Ne babaddamu nti, “Bwe munaaba muweerezaayo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.”#Leev 7:15-16 4Ne babuuza nti, “Kiki kyetunaweereza olw'omusango?” Ne baddamu nti, “Munaweererezaako ebibumbe ebya zaabu bitaano (5), ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano (5) ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafirisuuti kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.#Yos 13:3, 1 Sam 5:6,9,12; 6:17,18 5Muteekwa okukola ebibumbe by'ebizimba byammwe n'ebibumbe bye mmese zammwe ezoonoona ensi; era muteekwa okuwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri, oboolyawo anaabaggyako okubonerezebwa; mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.#Yos 7:19, 1 Sam 5:3,4,6,7,9,11,12 6Kale mukakanyaliza ki emitima gyammwe, nga Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe? Bwe yamala okubabonereza teebaleka bantu kugenda ne bagenda?#Kuv 8:15,32; 12:31; 14:17 7Kale nno kaakano muddire ekigaali ekimpya mukiteeketeeke, mukisibeeko ente bbiri (2) ezikamwa ezitasibwangako kikoligo, muzigyeko ennyana zaazo muzizeeyo eka,#Kubal 19:2, Ma 21:3, 2 Sam 6:3 8muddire essanduuko ya Mukama, mugiteeke ku kigaali; muteeke ebintu ebya zaabu, bye mumuweereza okuba ekiweebwayo olw'omusango, mu ssanduuko endala ku mabbali gaayo; mugisindike egende.#Leev 5:15,16, 1 Sam 6:4 9Mutunule bweneyambukira mu kkubo eriraga e Besusemesi mu nsi yaayo gye beera, awo munategeera nga Katonda wa Isiraeri yeyatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, munategeera nti ebibonerezo ebyatutukako; byatugwira bugwizi.”#1 Sam 6:3 10Abasajja ne bakola bwe batyo; ne baddira ente bbiri (2) ezikamwa, ne bazisiba ku kigaali, ne bazzayo ennyana zaazo eka. 11Awo ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali, ne ssanduuko endala erimu ebibumbe ebya zaabu ebifaanana emmese n'ebyo ebifaanana ebizimba byabwe. 12Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi; zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo ey'e Besusemesi. 13N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu, ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba. 14Ekigaali n'ekituuka mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyimirira eyo, awaali ejjinja eddene; ne baasa emiti gy'ekigaali, ne bawaayo ente ezo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.#2 Sam 24:22 15Awo Abaleevi ne bassa essanduuko ya Mukama n'essanduuko endala eyali nayo omwali ebintu ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eryo eddene; Ababesusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne basala ssaddaaka ku lunaku olwo eri Mukama. 16N'abaami abataano (5), ab'Abafirisuuti bwe baakiraba, ne baddayo e Ekuloni ku lunaku olwo.
17Ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino; ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;#Yos 13:3, 1 Sam 6:3,8 18Era ne baweereza n'ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ng'emmese, ebyenkana obungi bw'ebibuga byonna ebyafugibwanga abaami b'Abafirisuuti abataano (5), ebyali byetooloddwa ebigo, n'ebyalo ebitaaliko bigo. Ejjinja eddene kwe baateeka Ssanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa Omubesusemesi, likyaliwo ne leero okukakasa ebyo ebyaliwo. 19Awo Mukama n'atta ku Babesusemesi abantu nsanvu (70), kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama; abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabatta mu abantu bangi nnyo.#Kuv 19:21, Kubal 4:15,20, 2 Sam 6:7 20Ababesusemesi ne boogera nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Era anaagenda waani nga atuvuddeko?”#Yos 24:19, 2 Sam 6:9, Zab 76:7, Is 33:14, Mal 3:2 21Ne batumira abo abaatuula mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga boogera nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama; mujje mmwe mugiddukire ebeere gye muli.”#1 Byom 13:5,6