1 Samwiri 8
8
Entandikwa y'obwakabaka bwa Isiraeri
(8:1-22)
Abaana ba Isiraeri basaba okufuna kabaka
1Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be okuba abalamuzi ba Isiraeri. 2Mutabani we omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya; abo baali balamuzi mu Beeruseba. 3Batabani be ne batatambulira mu makubo ge ne banoonya okufuna ebintu, ne balya enguzi, ne misango ne batagisalanga mu bwenkanya.#Kuv 18:21; 23:8, Ma 16:19, 1 Sam 2:12, Zab 15:5
4Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, 5ne bamugamba nti, “Laba, ggwe okaddiye, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go; kale tulondere kabaka atufugenga ng'amawanga amalala gonna.”#Ma 17:14, 1 Sam 8:19,20, Kos 13:10, Bik 13:21 6Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti, “Tulondere kabaka atufugenga.” Samwiri n'asaba Mukama. 7Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba, kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, okuba kabaka waabwe.#Kuv 16:8, 1 Sam 10:19 8Bwe batyo bwe babadde bakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya e Misiri okutuusa leero, nga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo.#Balam 2:12; 10:13 9Kale nno kaakano bawulirize, naye obannyonnyolere ddala engeri kabaka alibafuga gy'alibayisaamu.”#1 Sam 10:25
10Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna. 11N'abannyonnyola nti, “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu, batabani bammwe alibayingiza mu maggye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge.#Ma 17:16, 1 Sam 14:52, 1 Bassek 1:5 12Abantu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa eby'okulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge. 13Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga eby'obuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati. 14Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be.#1 Bassek 21:7, Ez 46:18 15Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'emmere yammwe ey'empeke, n'eky'ebibala byammwe eby'emizabbibu n'abigabira abaami be n'abaddu be. 16Alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'abavubuka bammwe abasinga obulungi, n'endogoyi zammwe, okukola emirimu gye. 17Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be. 18Mu nnaku ezo mulikaaba olwa kabaka wammwe, mmwe mwennyini gwe muliba mwerondedde, naye olwo Mukama talibaddiramu.”#Nge 1:28, Is 1:15, Am 8:12, Mi 3:4 19Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti, “Nedda; naye twagala kabaka atufuge; 20naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atukulemberenga nga ntabaalo era atulwanirenga entalo zaffe.”#1 Sam 8:5 21Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abitegeeza Mukama. 22Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi lyabwe obalondere kabaka.” Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti, “Muddeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.”#1 Sam 14:51, 1 Byom 8:33
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.