1 Samwiri 3
3
Mukama ayita Samwiri
1Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. Ekigambo kya Mukama kyali kya bbula mu nnaku ezo; era tewaalingawo kwolesebwa kwa lwatu.#1 Sam 2:11,18, Zab 74:9, Am 8:11 2Awo olwatuuka mu biro ebyo, amaaso ga Eri gaali gatandiise okuyimbaala, nga takyayinza kulaba, era yali nga agalamidde mu kisenge kye;#Lub 27:1; 48:10, Ma 34:7, 1 Sam 4:15 3n'ettabaaza ya Katonda yali nga tennazikira, nga ne Samwiri agalamidde okwebaka mu Yeekaalu ya Mukama omuli essanduuko ya Katonda; 4awo Mukama n'ayita, “Samwiri! Samwiri!” N'ayitaba nti “Nze nzuuno.” 5Samwiri n'ayanguwa n'agenda eri Eri n'ayogera nti, “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita, ddayo weebake.” N'agenda, n'eyeebaka. 6Mukama n'amuyita nate omulundi ogwokubiri nti, “Samwiri.” Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'amugamba nti “Nzuuno kubanga ompise.” Eri n'addamu nti, “Sinakuyita ddayo weebake.” 7Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa. 8Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogwokusatu, Samwiri n'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti “Nze nzuuno kubanga ompise.” Awo Eri n'ategeera nti Mukama ye yali ayita omwana. 9Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake.” Awo olunaatuuka bw'anaaba ng'akuyise onooyanukula nti, “Yogera Mukama wange, kubanga omuddu wo awulira.” Awo Samwiri n'agenda neyeebaka mu kifo kye. 10Awo Mukama n'ajja n'ayita ng'olulala nti, “Samwiri, Samwiri.” Awo Samwiri n'addamu nti, “Yogera kubanga omuddu wo awulira.”#Lub 46:2, Kuv 3:4, Bik 9:10 11Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Laba ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryanaamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.#2 Bassek 21:12, Yer 19:3 12Ku lunaku olwo ndituukiriza ku Eri byonna bye nnaakoogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomerero.#1 Sam 2:17,22-25,30-36, 1 Tim 3:4 13Ndisalira ennyumba ye omusango ogw'olubeerera olw'ekibi kye yamanya batabani be kye bayonoona ne beeretako ekikolimo naye n'atabaziyiza. 14Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu bw'ennyumba ye tebugenda kugibwawo na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo ennaku zonna.”#Is 22:14 15Samwiri neyeebaka okutuusa obudde bwe bwakya, n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama naye naatya okubuulira Eri bye yali ayolesebwa. 16Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti, “Samwiri, mwana wange.” Samwiri n'addamu nti, “Nze nzuuno.” 17Eri n'amubuuza nti, “Mukama y'akugambye ki? Nkwegayiridde mbuulira tonkisa, Katonda akubonereze n'obukambwe bw'onoonkisa ekigambo kyonna ku ebyo bye yakugambye.”#Luus 1:17 18Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. Eri n'addamu nti, “Ye Mukama akole nga bw'asiima.”#2 Sam 10:12; 15:26, Yob 1:21; 2:10, Zab 39:9, Is 39:8 19Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, Mukama n'ataganya kigambo kye na kimu kugwa butaka.#1 Sam 2:21; 9:6 20Abaisiraeri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.#Balam 20:1, 2 Sam 3:10, Bik 13:20 21Awo Mukama n'ayongera nate okulabikira Samwiri mu Siiro, kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro ng'ayita mu kigambo kya Mukama.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.