1 Samwiri 2
2
Kaana atendereza Mukama
1Awo Kaana n'asaba Mukama ng'ayogera nti,
“Omutima gwange gujaguliza Mukama,
N'amaanyi gange gali mu Mukama:
Nsekerera abalabe bange;
Kubanga nsanyukira obulokozi bwo.”#Luk 1:46-55, 1 Sam 2:10, Zab 9:14; 13:5; 75:10; 92:10, Is 61:10
2Tewali mutuukirivu nga Mukama;
Tewali mulala amufaanana;
So tewali lwazi oluliŋŋaanga Katonda waffe.#Kuv 15:11, Ma 32:30,31, Zab 20:4,5, Luk 7:50; 8:48
3Mulekere awo okwenyumiriza;
Mukome okwogeza amalala:
Kubanga Mukama ye Katonda, ow'okumanya
Era alamula byonna abantu bye bakola.#1 Sam 1:11
4Emitego egy'abazira gimenyese.
Naye abanafu bafunye amaanyi.#Zab 37:15; 46:9; 76:3
5Abakkutanga kaakati bapakasizza okufuna emmere;
N'abo abaalumwanga enjala bakkusse:
Weewaawo, omugumba azadde musanvu;
N'oyo alina abaana abangi ayongobera.#Zab 113:9, Is 54:1, Yer 15:9
6Mukama atta ate n'alamya:
Aserengesa emagombe ate n'abajjayo.#Ma 32:39, Kos 6:1,2
7Mukama ayavuwaza ate n'agaggawaza:
Atoowaza ate n'agulumiza.#Yob 1:21; 5:11, Zab 75:7
8Ayimusa abaavu okubaggya mu nfuufu,
Asitula abeetaaga okubaggya mu ntuumo ye bisasiro;
Okubatuuza awamu n'abalangira,
Basikire entebe ey'ekitiibwa:
Kubanga empagi z'ensi za Mukama,
Era yateeka ebintu byonna okwo.#Yob 36:7; 38:4-6, Zab 75:3; 113:7,8, Dan 4:17, Luk 1:52
9Aluŋŋamya okutambula kw'abatukuvu be,
Naye ababi babulira mu kizikiza;
Kubanga omuntu tawangula lwa maanyi ge.#Zab 33:16,17; 91:11; 121:3, Nge 3:26
10Abawakana ne Mukama balimenyekamenyeka;
Alibabwatukira ng'ayima mu ggulu:
Mukama alisala omusango gw'enkomerero z'ensi;
Era aliwa kabaka we amaanyi,
N'agulumiza oyo gwe yafukako amafuta.#1 Sam 2:1; 7:10, Zab 2:9; 18:13,50; 89:24; 96:10,13; 98:9, Luk 1:69
11Awo Erukaana n'addayo ewuwe e Lama. Omwana n'asigala ng'aweereza Mukama nga alabirirwa Eri.
12Awo batabani ba Eri baali baana ba Beriali; tebaamanya Mukama.#Balam 2:10; 19:22, Kos 4:1, Bar 1:28
Batabani ba Eri
13Empisa bakabona gye baayisanga eri abantu yali bw'eti; omuntu yenna bwe yawangayo ssaddaaka, awo omuddu wa kabona n'ajja, nga bakyafumba ennyama, ng'alina ekkato ery'amannyo asatu (3) mu ngalo ze;#Kuv 27:3, Ma 18:3, Yos 11:20 14n'akisoya mu nsaka oba mu bbinika oba mu ntamu oba musufuliya; byonna ekkato bye lyaleetanga nga kabona abitwala. Bwe batyo bwe baayisanga buli mu Isiraeri eyaagendanga e Siiro okuwaayo ssaddaaka. 15Bwe babanga tebannaba kwokya masavu, ng'omuddu wa kabona ajja ng'agamba omusajja oyo awaayo ssaddaaka nti, “Mpa ennyama ey'okwokera kabona kubanga tayagala omuwe ennyama enfumbe wabula embisi.”#Leev 3:16; 7:23,25,31 16Omusajja bwe yamuddangamu nti, “Kabasooke bookye amasavu, olyoke otwale ennyama gy'oyagala.” Awo ng'omuweereza amuddamu nti, “Nedda olina okugimpa kaakano, bw'ogaana nja kugitwala lwa mpaka.” 17Ekibi ky'abalenzi abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga abantu baatamwa okuwaayo ekiweebwayo eri Mukama.#Mal 2:8
Samwiri e Siiro
18Naye Samwiri n'aweererezanga mu maaso ga Mukama, nga mwana muto, ng'ayambadde ekkanzu eya bafuta.#Kuv 28:4, 1 Sam 2:11, 2 Sam 6:14 19Era buli mwaka nnyina yamutungiranga akakanzu n'akamuleeteranga bwe yabanga agenda ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.#1 Sam 1:3 20Eri n'asabira Erukaana ne mukazi we omukisa ng'ayogera nti, “Mukama akuwe ezzadde mu mukazi ono olw'ekyo kye yawa Mukama.” Awo ne baddayo eka ewaabwe.#1 Sam 1:28 21Awo Mukama nawa Kaana omukisa n'azaala abaana ab'obulenzi basatu n'ab'obuwala babiri. Naye omwana Samwiri n'akulira mu maaso ga Mukama.#Lub 21:1, Luk 1:80; 2:40
Eri ne batabani be
22Awo Eri yali akaddiye nnyo; n'awuliranga byonna batabani be bye baakolanga Abaisiraeri bonna era nga ne bwe beebakanga n'abakazi abaaweererezanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.#Kuv 38:8 23N'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo? Kubanga abantu bonna bambuulira ebikolwa byammwe ebibi. 24Nedda, baana bange; kubanga bye mpulira si birungi n'akatono: mwonoonyeseza abantu ba Mukama. 25Omuntu bw'asobya ku munne, Katonda alimusalira omusango, naye omuntu bw'asobya ku Mukama, ani alimwegayiririra?” Naye ne batawulira ddoboozi lya kitaabwe, kubanga Mukama asazzewo okubatta.#Yos 11:20 26Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n'aba muganzi eri Katonda n'eri abantu.#Luk 2:52
Ekibonerezo kirangirwa ku nnyumba ya Eri
27Awo omusajja wa Katonda najja eri Eri, n'amugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Neeraga eri ennyumba ya kitaawo bwe baali nga baddu ba Falaawo e Misiri?#Kuv 4:14,27, 1 Sam 9:6, 1 Bassek 13:1; 17:18, 2 Bassek 4:9 28Era n'amuggya mu bika byonna ebya Isiraeri ne mmulonda okuba kabona wange, okuweerezanga ku kyoto kyange, okwoterezanga obubaane, n'okwambalanga ekkanzu mu maaso gange era n'empa ennyumba ya kitaawo omugabo ku byonna ebiweebwayo ebyokebwa aba Isiraeri bye baleeta.#Kuv 28:1, Leev 2:3; 6:16; 7:7,8,34, Kubal 18:1,7, 1 Sam 14:3; 22:18 29Lwaki temussamu kitiibwa ssaddaaka n'ebiweebwayo gye ndi bye nnalagira mu nnyumba yange, naye n'ossaamu ekitiibwa batabani bo okusinga nze, naye ne mugejjera ku biweebwayo byange ebisinga obulungi kw'ebyo byonna Isiraeri abantu bange bye bawaayo?’#Ma 32:15 30Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava agamba nti, ‘Weewaawo n'ayogera nti ekika kye n'ekika kya kitaawo banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna,’ naye kaakano Mukama agamba nti,‘Ekyo nkiggyewo, abo abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, n'abo abannyooma tebaabengamu ka buntu.’#Kuv 29:9, Zab 18:25,26; 91:15, Yok 12:26 31Laba ennaku zijja, lwe ndizikiriza abantu mu nnyumba ya kitaawo ne wataba akaddiwa mu nnyumba yo.#1 Sam 4:11; 18:20; 22:18-19, Yer 48:25 32Olitunuulira n'obuggya ebirungi by'endikolera Isiraeri naye tewaliba akaddiwa mu nnyumba yo ennaku zonna.#Zab 78:59-64 33Naye omusajja wo gwe ssiizikirizanga n'asigala nga akyaweereza ku kyoto kyange anaabeeranga wa kukaabya maziga n'akukunakuwaza omwoyo gwo; n'ezzadde lyonna ery'ennyumba yo banaafanga kye bajje bavubuke. 34Era kano ke kaliba akabonero kw'olitegeerera nga byonna bye ŋŋambye birituukirira, batabani bo bombi, Kofuni ne Finekaasi; bombi balifa ku lunaku lumu.#1 Sam 4:11, 1 Bassek 13:3 35Nange ndyerondera kabona omwesigwa anaakolanga ebyo bye njagala era ebinsanyusa; ndimuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira ennaku zonna era anaaweerezanga ennaku zonna mu maaso g'oyo gwe ndifukako amafuta.#2 Sam 7:11,27, 1 Bassek 2:35; 11:38, Zab 18:50, Ez 44:15 36Awo olulituuka, buli alisigala mu nnyumba yo aligenda n'amufukaamirira n'amusaba ekitundu eky'effeeza n'omugaati nga ayogera nti, ‘Nkwegayiridde mpa obumu ku buweereza bwa bakabona nfune eky'okulya.’ ”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.