1 Samwiri 4
4
Essanduuko ey'endagaano ennyagibwa
1Ekigambo kya Samwiri ne kijja eri Isiraeri yenna. Awo Abaisiraeri ne basituka okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira okumpi ne Ebenezeri naye Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki.#1 Sam 7:12 2Abafirisuuti ne balumba Abaisiraeri, bwe basisinkana Abafirisuuti ne bakuba Abaisiraeri ne babattamu abasajja ng'enkumi nnya (4,000).#Ma 28:25 3Awo abantu bwe baddayo mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne beebuuza nti, “Lwaki leero Mukama akkirizza Abafirisuuti okutuwangula? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama tugiggye e Siiro tugireete wano etulokole mu mikono gy'abalabe baffe.”#Yos 18:1, 1 Sam 3:3, 2 Sam 11:11 4Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano eya Mukama ow'eggye, atuula mu bakerubi; ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda.#Kuv 25:22, 2 Sam 6:2, Zab 80:1; 99:1 5Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n'ewuumira ddala.#Yos 6:5,20 6Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano mu lusiisira lw'Abaebbulaniya ne bagamba nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Nebategeera nti essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira. 7Awo Abafirisuuti ne batya ne bagamba nti, “Katonda atuuse mu lusiisira lwabwe.” Ne bagamba nti, “‘Zitusanze! kubanga ekyo ekigambo ekifaanana bwe kityo tekibangawo.’” 8“ ‘Zitusanze! ani anaatulokola mu mukono ogw'abakatonda abo ab'amaanyi abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonyoobonyo ebya buli ngeri.’”#Yos 24:5, Kub 11:6 9Awo Abafirisuuti ne bagambagana nti, “Muddemu amaanyi, mulwane masajja muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya nga bo bwe baabanga abammwe. Mugume mulwane masajja.”#Balam 13:1, 2 Sam 10:12, 1 Kol 16:13 10Awo Abafirisuuti ne balwana ne bakuba Abaisiraeri, Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu weema ye. Abantu bangi ne battibwa Abaisiraeri ne baffaamu abasserikale abatambula n'ebigere emitwalo esatu (30,000).#Leev 26:17, 1 Sam 4:2, 2 Sam 18:17; 19:8, Zab 78:8,62 11Essanduuko ya Mukama n'enyagibwa ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.#1 Sam 2:34, Zab 78:60-61,64
Okufa kwa Eri
12Awo omusajja ow'omu kika kya Benyamini n'ava mu ddwaniro ku lunaku olwo, n'adduka n'atuuka e Siiro nga ayuzizza engoye ze nga yeesiize n'ettaka ku mutwe okulaga obunakuwavu.#2 Sam 1:2 13Awo bwe yatuuka, Eri yali ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'alindirira, kubanga yali nga yeeraliikirira olw'essanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga, naawa abantu amawulire, ekibuga kyonna ne kireekaanira waggulu.#1 Sam 1:9 14Awo Eri bwe yawulira oluyoogaano, n'abuuza nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Omusajja n'ayanguwa n'amubuulira. 15Eri yali awezezza emyaka kyenda mu munaana (98), n'amaaso ge gaali gayimbadde, nga takyayinza kulaba.#1 Bassek 14:4 16Omusajja n'agamba Eri nti, “Nze nvudde mu ddwaniro.” Eri n'amubuuza nti, “Bibadde bitya, mwana wange?”#2 Sam 1:4 17Awo eyaleeta amawulire n'addamu nti, “Abaisiraeri bawanguddwa Abafirisuuti. Era abantu bangi nnyo abattiddwa, ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.” 18Awo olwatuuka, bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n'awanuka ku ntebe ye n'agwa bugazi kumpi n'omulyango, ensingo ye ne kutukako n'afa; kubanga yali mukadde nnyo ate nga muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana (40).#1 Sam 4:13
Okufa kwa muka Finekaasi
19Awo mukaamwana wa Eri, muka Finekaasi, yali lubuto lukulu ng'anaatera okuzaala. Bwe yawulira nti essanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, najjirwa okulumwa okuzaala n'afukamira n'azaala. 20Bwe yali ng'anaatera okufa, abakyala abaali bamulabirira ne bamugamba nti, “Totya, kubanga ozadde omwana wa bulenzi.” Kyokka ye teyabaddamu era teyafaayo.#Lub 35:17 21N'atuuma omwana erinnya Ikabodi ng'ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne ssezaala we ne bba bafudde.”#1 Sam 4:11; 14:3, Zab 26:8; 78:61, Yer 7:12 22Awo n'agamba nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga essanduuko ya Katonda enyagiddwa.”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.