1 Samwiri 1
1
Ebikwata ku Samwiri
(1:1—7:17)
Erukaana na b'omu nnyumba ye e Siiro
1Awo waaliwo omusajja ow'e Lamasaimuzofimu, eky'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Erukaana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eriku, mutabani wa Toku, mutabani wa Zufu, Omwefulayimu.#1 Sam 1:19 2Erukaana yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina; era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana. 3Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'agenda e Siiro okusinza n'okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.#Kuv 23:14, Yos 18:1, 1 Sam 1:21; 4:4, Zab 78:60, Luk 2:41 4Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerangayo ssaddaaka, n'awa Penina mukazi we omugabo gumu, ne batabani be ne bawala be buli omu omugabo gumu gumu;#Ma 12:17,18 5naye olw'okuba Kaana yamwagala nnyo yamuwanga emigabo ebiri (2), naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe. 6Naye Penina muggya we n'amusunguwazanga nnyo n'okumweraliikirizanga, olw'okubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.#Lub 16:4 7Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe bagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Kaana. Kaana kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya. 8Awo Erukaana bba n'amubuuza nti, “Kaana, okaabira ki? Kiki ekikugaana okulya? N'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? Nze sisinga baana kkumi (10) gy'oli obulungi?”#Luus 4:15 9Bwe baamala okulya n'okunywa e Siiro, Kaana n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eri kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gwa Yeekaalu ya Mukama.#1 Sam 3:3 10Kaana omwoyo gwe gwali gumuluma nnyo, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.#Yob 7:11; 10:1 11Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti, “Ayi Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo gyendabye, n'onjijukira n'otonerabira, naye n'ompa omwana ow'obulenzi, nange ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so ne nviiri ze tezimwebwengako.”#Lub 28:20; 29:32, Kubal 6:5, Balam 11:30; 13:5; 16:17,28, Luk 1:15,48 12Awo bwe yeeyongera okusaba mu maaso ga Mukama, Eri ne yekkaanya emimwa gye. 13Kaana yasabira mu mutima gwe; emimwa gye, gye gyenyenya naye ebigambo bye tebyawulikika; Eri kyeyava alowooza nti atamidde. 14Eri n'amubuuza nti, “Olituusa wa okutamiiranga? Weggyeeko ettamiiro.” 15Kaana n'addamu n'ayogera nti, “Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina omwoyo ogunakuwadde; sinywedde mwenge newakubadde ekitamiiza, naye mbadde nyanjulira Mukama enaku eri ku mutima gwange.#Yob 30:16, Zab 42:4; 62:8, Kung 2:19 16Tolowooza nti ndi mukazi ataliimu nsa, naye mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nsizide okwogera okutuusa kaakano.”#Balam 19:22, 1 Sam 2:12, Luk 1:46-55, 1 Sam 2:10, Zab 9:14; 13:5; 75:10; 92:10, Is 61:10 17Awo Eri n'addamu Kaana nti, “Genda mirembe, era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'omusabye.”#Balam 18:6, 1 Sam 20:42, 2 Bassek 5:19, Zab 20:4,5, Luk 7:50; 8:48 18Kaana n'amuddamu nti, “Weebale kunjagaliza mukisa nze omuzaana wo.” Awo Kaana n'addayo n'alya n'ataddayo kunakuwala nate.#Lub 33:15, Luus 2:13 19Erukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka enkya ku makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne bayingira mu nnyumba yaabwe mu Laama. Erukaana ne yegatta ne mukazi we Kaana; Mukama n'amujjukira.#Lub 8:1; 30:22, 1 Sam 1:1,11 20Awo olwatuuka ebiro bwe byatuuka Kaana n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; n'amutuuma Samwiri, eritegeeza nti, “Nnamusaba eri Mukama.” 21Awo omusajja Erukaana n'ab'omunnyumba ye bonna ne bagenda nate okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'okutuukiriza obweyamo bwe.#1 Sam 1:3 22Naye Kaana ye n'atagenda kubanga yagamba nti, “Sijja kugendayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.”#1 Sam 2:11,18; 3:1 23Erukaana bba n'amugamba nti, “Kola nga bw'oyagala; beera wano okutuusa lw'olimala okuggya omwana ku mabeere era Mukama atuukirize byeweyama.” Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.#Kubal 30:7, 2 Sam 7:25 24Awo bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala ng'alina ente ssatu, ne efa emu n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge, n'amutuusa mu nnyumba ya Mukama mu Siiro; naye omwana yali akyali muto.#Ma 12:5,6,11, Yos 18:1, 1 Sam 1:3,9 25Ne batta ente ne baleetera Eri omwana. 26N'amugamba nti, “Ayi mukama wange, nga bw'oli omulamu, nze mukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.#1 Sam 17:55; 20:3, 2 Sam 11:11, 2 Bassek 4:30 27Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba;#1 Sam 1:11, Zab 6:9 28nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu.” Kaana n'asinziza eyo Mukama.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.