OKUBALA 35
35
Ebibuga ebyaweebwa Abaleevi
1Mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani okwolekera Yeriko, Mukama gye yagambira Musa nti:#Laba ne Yos 21:1-42 2“Lagira Abayisirayeli, bawe Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga batoola ku ebyo Abayisirayeli abo bye baagabana okuba obutaka bwabwe, era babawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo. 3Ebibuga ebyo binaabanga bya Baleevi babibeerengamu. N'ettale lyakwo linaabanga lyabwe okulundirangamu amagana gaabwe ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.
4“Ettale eryetoolodde ebibuga bye muliwa Abaleevi, liriba lya mita ebikumi bina mu ataano okuva ku kisenge ky'ekibuga, okwetooloola enjuyi zonna. 5Era muligera ebweru w'ekibuga mita lwenda ku ludda olw'ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw'ebukiikaddyo, mita lwenda ku ludda olw'ebugwanjuba, mita lwenda ku ludda olw'ebukiikakkono ekibuga nga kye kiri wakati. Eryo lye liriba ettale ery'okulundiramu, eryetoolodde ebibuga byabwe.
6“Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala amakumi ana mu bibiri. 7Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi, biriba amakumi ana mu munaana, nga biriko ettale lyakwo. 8Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abayisirayeli okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”
Ebibuga eby'obuddukiro
(Laba ne Ma 19:1-3; Yos 20:1-9)
9Mukama n'agamba Musa#Laba ne Ma 19:2-4; Yos 20:1-9 10ayogere n'Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulisomoka Omugga Yorudaani ne muyingira ensi y'e Kanaani, 11mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. 12Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona omuwoolezi w'eggwanga, buli anaabanga asse omuntu alemenga kuttibwa nga tannawozesebwa mu lujjudde lw'abantu. 13Ebibuga bye muliwaayo okuba eby'obuddukiro, biriba mukaaga. 14Muliwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwa Yorudaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanaani, bibenga bibuga bya buddukiro. 15Ebibuga ebyo omukaaga, binaabanga bya buddukiro bwa Bayisirayeli, n'omugwira azze obugenyi, n'oyo abeerera ddala mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaayinzanga okuddukira mu kimu ku byo.
16“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. 17Era oyo anaakwatanga ekissi eky'ejjinja n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. 18Era oyo anaakwatanga ekissi eky'omuti n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa. 19Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omutemu oyo. Bw'anaamusisinkananga, anaamuttanga.
20“Singa oli akyawa omuntu n'amusindika n'agwa, oba singa amwekwekerera n'amukasuukirira ekintu, omuntu oyo n'afa, 21oba singa amukuba oluyi, oba ekikonde, olw'obulabe, omuntu oyo n'afa, oyo amukubye, mutemu, era taalemenga kuttibwa. Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu oyo attiddwa, anattanga omutemu oyo ng'amusisinkanye.
22“Naye bw'aba nga yamusindika mu butanwa, awatali bulabe, n'agwa, oba nga yabaako ky'amukasuukirira nga tamuteeze, 23era oba nga yaddira ejjinja eriyinza okutta omuntu, n'alimusuulako nga tamulabye, omuntu oyo n'afa, sso nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera kumukolako kabi, 24kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'owooluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano. 25Ekibiina ky'abantu kinaawonyanga oyo eyatta nga tagenderedde, ne kimuggya mu mikono gy'owooluganda awoolera eggwanga olw'omufu, ne kimuzzaayo mu kibuga eky'obuddukiro kye yali addukiddemu, n'abeera omwo, okutuusa Ssaabakabona aliko lw'anaafanga. 26Naye eyatta omuntu bw'anaavanga mu kibuga eky'obuddukiro kye yaddukiramu, 27owooluganda omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ebweru waakyo, n'amutta, oyo amusse taabengako musango gwa butemu, 28kubanga oyo eyatta omuntu, yandibadde abeerera ddala mu kibuga ekyo eky'obuddukiro kye yaddukiramu, okutuusa nga Ssaabakabona amaze okufa. Ssaabakabona ng'amaze okufa, olwo eyatta omuntu anaddangayo ku butaka bwe. 29Ago ge ganaabanga amateeka ge munaakuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga.
30“Anaabanga asse omuntu, anattibwanga nga waliwo abajulizi waakiri babiri abamulumiriza ogw'obutemu. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga.#Laba ne Ma 17:6; 19:15 31Temukkirizenga kintu na kimu kusasulwa olw'okununula obulamu bw'omutemu asaliddwa ogw'okufa, wabula taalemenga kuttibwa. 32Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga Ssaabakabona tannafa. 33Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obutemu bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obutemu obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo eyatemula. 34Kale temwonoonanga nsi gye mubeeramu, era nange gye mbeeramu, kubanga Nze Mukama, mbeera wamu n'Abayisirayeli.”
Currently Selected:
OKUBALA 35: LB03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: