YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 15

15
Amateeka agafuga ebitambiro
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Yogera n'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye ŋŋenda okubawa okubeerangamu, 3ne mwagala okutoola ku nte, ne ku ndiga ne mbuzi zammwe, okuntonera Nze Mukama ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira, oba ku nnaku zammwe enkulu ezaateekebwawo, akawoowo k'ebyokulya ebyo, kansanyusa Nze Mukama. 4Oyo antonera Nze Mukama ekitone kye eky'engeri eyo, anaakiwangayo wamu ne kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita y'omuzigo ogw'emizayiti, nga kye kiweebwayo eky'emmere ey'empeke. 5Anaawangayo ne lita y'omwenge gw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Ebyo bye munaategekanga bigendere wamu na buli kiweebwayo ekyokebwa, oba ekitambiro eky'endiga ento.
6“Oba nga endiga ennume ye eweebwayo, munaategekanga kilo bbiri ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, nga butabuddwamu lita emu n'ekitundu ey'omuzigo ogw'emizayiti, ebyo ne biba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. 7Era munaawangayo lita emu n'ekitundu ey'omwenge ogw'emizabbibu, nga kye kiweebwayo eky'ebyokunywa. Akawoowo kaakyo kansanyusa Nze Mukama.
8“Bwe munaategekanga okuntonera, Nze Mukama, ente ebe ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, okutuukiriza obweyamo, oba ebe ekiweebwayo olw'okutabagana, 9omuntu anaagiweerangayo wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, kya kilo ssatu ez'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu lita bbiri ez'omuzigo ogw'emizayiti. 10Era munaawangayo n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa kya lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu. Akawoowo k'ekitambiro ekyo kansanyusa Nze Mukama.
11“Ebyo bye binaaweebwangayo nga muwaayo buli nte ennume, oba buli ndiga ennume, oba buli ndiga ento, oba embuzi. 12Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo. 13Bannansi bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaabanga bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama. 14N'omugwira abeera mu mmwe okumala akabanga oba ebbanga lyonna, bw'anaabanga ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, anaakoleranga ddala nga mmwe bwe mukola. 15Mu kibiina munaabangamu amateeka ge gamu agafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe, era amateeka ago tegaakyukenga ennaku zonna. Mmwe, n'abagwira abo, munaayisibwanga bumu mu maaso ga Mukama. 16Amateeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu ebibafuga mmwe, n'abagwira ababeera mu mmwe.”#Laba ne Leev 24:22
17Mukama era n'agamba Musa 18ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwalamu, 19ekiseera ne kituuka ne mulya ku mmere erimiddwa mu nsi eyo, mulyawuzaako ekitundu, kibe ekitone ekyenjawulo kye muntonera, Nze Mukama. 20Ku ŋŋaano gye musooka okukanda, munaggyangako omugaati ne muguwaayo, gube ekitone ekyenjawulo. 21Mu biseera byammwe byonna eby'omu maaso, ku ŋŋaano yammwe gye musooka okukanda, munaggyangako ekiweebwayo ekyenjawulo ne mukintonera, Nze Mukama.
22“Naye oboolyawo munaayinzanga okusobya mu butali bugenderevu, ne mutatuukiriza biragiro bino byonna, Nze Mukama bye ntegeezezza Musa. 23Era oboolyawo gye bujja, munaayinzanga okulemwa okukola byonna, Nze Mukama bye nalagira nga mpita mu Musa. 24Bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, olw'okuba ng'ekibiina kibadde tekimanyi kiteekwa kukolebwa, ekibiina kyonna kinaawangayo ente ennume emu envubuka, n'eba ekiweebwayo ekyokebwa eky'akawoowo akansanyusa Nze Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyakwo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako ng'etteeka bwe liragira, era n'embuzi emu ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi. 25Kabona anaasabiranga ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekisonyiwo, era banaasonyiyibwanga, kubanga ekisobyo ekyo tekyali kigenderere, era banaabanga bandeetedde Nze Mukama ekitone kyabwe eky'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi olw'ekisobyo ekyo. 26Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu bo, kinaasonyiyibwanga, kubanga bonna banaabanga bakoze ensobi eyo nga si ŋŋenderere.
27“Omuntu bw'anaakolanga ekibi nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ey'omwaka ogumu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.#Laba ne Leev 4:27-31 28Omuntu oyo akoze ekibi nga tagenderedde, kabona anaamusabiranga ekisonyiwo gye ndi Nze Mukama, n'asonyiyibwa. 29Munaabeeranga n'amateeka ge gamu agafuga buli akola ekibi nga tagenderedde, k'abe omuzaaliranwa Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli.
30“Naye buli anaakolanga ekibi ng'agenderedde, k'abe omuzaaliranwa oba omugwira, oyo anaabanga anyoomodde Mukama, era anaaboolebwanga mu bantu be, 31kubanga anaabanga anyoomye ekigambo kyange Nze Mukama, era ng'amenye ekiragiro kyange, ne yeesingisa yekka omusango, n'aboolebwa.”
Omuntu eyamenya ekiragiro kya Sabbaato attibwa
32Lwali lumu Abayisirayeli nga bakyali mu ddungu, ne wabaawo omuntu eyasangibwa ng'alonderera obuku ku lunaku lwa Sabbaato. 33Abo abaamusanga ne bamuleeta eri Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna, 34n'akuumibwa nga musibe, kubanga baali tebannamanya kya kumukolera. 35Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.” 36Ekibiina kyonna ne kimufulumya ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja n'afa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ebijwenge ku byambalo
37Mukama n'agamba Musa 38ayogere n'Abayisirayeli, abalagire nti: “Mutungenga bulijjo ebijwenge ku mikugiro gy'ebyambalo byammwe, era ku bijwenge ebiri ku buli mukugiro, muteekengako akawuzi aka bbululu.#Laba ne Ma 22:12 39Ebijwenge ebyo bibabeererenga akabonero akabajjukiza: buli lwe munaabirabanga, mujjukirenga ebiragiro byange byonna, mutuukirizenga kye biragira, mulemenga okunvaako okugoberera ebyo emitima gyammwe n'amaaso gammwe bye bibaleetera okwegomba. 40Olwo mujjukirenga ebiragiro byange byonna, era mutuukirizenga kye biragira, mulyoke mubeererenga ddala bange. 41Nze Mukama, Nze Katonda wammwe. Nabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke mbe Katonda wammwe. Nze Mukama, Nze Katonda wammwe.”

Currently Selected:

OKUBALA 15: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in