YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 10

10
Amakondeere aga ffeeza
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Kola amakondeere abiri aga ffeeza, ogaweese, ogakozesenga okuyita abantu okukuŋŋaana, n'okubalagira okuva mu lusiisira okutambula. 3Bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakunŋŋaaniranga w'oli, ku mulyango gw'Eweema Ey'Okunsisinkanirangamu. 4Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze bokka, abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, be banaakuŋŋaaniranga w'oli. 5Bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebugwanjuba banaatandikanga okutambula. 6Bwe munaagafuuwanga omulundi ogwokubiri nga musirisaamu, ab'omu nsiisira eziri ku ludda olw'ebukiikaddyo banaatandikanga okutambula. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu, olw'okulagira abantu okutambula. 7Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu. 8Bakabona ab'olulyo lw'Arooni be banaafuuwanga amakondeere ago. Ekiragiro ekyo munaakikuumanga ennaku zonna. 9Era mu nsi yammwe bwe munaatabaalanga olutalo okwetaasaako abalabe ababali obubi, kale munaafuuwanga amakondeere ago nga musirisaamu, Nze Mukama Katonda wammwe ne ndyoka mbajjukira mmwe, ne mbawonya abalabe bammwe. 10Ne mu biseera byammwe eby'okusanyuka, ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, era ne ku ntandikwa ya buli mwezi, munaafuuwanga amakondeere ago nga muwaayo ebitone byammwe ebyokebwa, n'ebitambiro bye muwaayo olw'okutabagana. Olwo Nze Mukama Katonda wammwe nnaabajjukiranga mmwe, ne mbayamba.”
Abayisirayeli batandika olugendo
11Ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, okuva Abayisirayeli lwe baava e Misiri, ekire ne kiggyibwa waggulu wa Weema Entukuvu. 12Abayisirayeli ne batandika olugendo lwabwe olwabaggya mu Ddungu ly'e Sinaayi, ne batambulira mu bibinja byabwe. Ekire ne kiyimirira mu Ddungu ly'e Parani. 13Ne batandika okutambula, nga Mukama bwe yabalagira ng'ayita mu Musa.
14Aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Yuda ne bakulemberamu, nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda, yali Nahusooni mutabani wa Amminadabu. 15Ekibinja ky'ab'Ekika kya Yissakaari, kyali kikulirwa Netaneeli, mutabani wa Zuwari. 16N'ekibinja ky'ab'Ekika kya Zebbulooni, kyali kikulirwa Eliyaabu, mutabani wa Heloni.
17Olwo Eweema Entukuvu n'esimbulibwa. Ab'olulyo lwa Gerusooni n'ab'olulyo lwa Merari ne bagisitula, ne batandika okutambula.
18Ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lwa Rewubeeni, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni, yali Elizuuri mutabani wa Sedewuri. 19Ekibinja ky'ab'Ekika kya Simyoni, kyali kikulirwa Selumiyeeli, mutabani wa Zurisaddayi, 20n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Gaadi, kyali kikulirwa Eliyasaafu, mutabani wa Deweli.
21Abakohati ne balyoka baddako, nga basitudde eby'omu Kifo Ekitukuvu. We baatuukiranga awanaaba olusiisira, nga Eweema emaze okusimbibwa.
22Ku abo, ne kuddako aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Efurayimu, nga batambulira mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, yali Elisaama mutabani wa Ammihudi. 23Ekibinja ky'ab'Ekika kya Manasse, kyali kikulirwa Gamaliyeeli, mutabani wa Pedazuuri, 24n'ab'ekibinja ky'ab'Ekika kya Benyamiini nga bakulirwa Abidaani, mutabani wa Gidiyoni.
25Awo aba bbendera ey'olusiisira lw'ab'Ekika kya Daani, abaakooberanga ebibinja byonna, ne balyoka batandika okutambula nga bali mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, yali Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi. 26Ekibinja ky'ab'Ekika kya Aseri, kyali kikulirwa Pagiyeeli mutabani wa Okuraani, 27n'ekibinja ky'ab'Ekika kya Nafutaali nga kikulirwa Ahira mutabani, wa Enani. 28Eyo ye ngeri ebibinja Abayisirayeli bye baatambulirangamu gye byaddiriŋŋananga, bwe baabanga bava mu lusiisira olumu okudda mu lulala.
29Awo Musa n'agamba mukoddomi we Hobabu, mutabani wa Reweli Omumidiyaani nti: “Tutambula okugenda mu kifo, Mukama kye yagamba okutuwa. Mukama yasuubiza Yisirayeli ebirungi. Jjangu tugende ffenna, tuligabanira wamu naawe ebirungi ebyo.” 30Hobabu n'addamu nti: “Nze sijja kugenda. Nja kuddayo mu nsi y'ewaffe ne mu b'eŋŋanda zange.”
31Musa n'amuddamu nti: “Totuleka, nkwegayiridde, kubanga ggwe omanyi we tunaayinzanga okusiisira mu ddungu, era ggwe onoogendanga otulagirira. 32Kale bw'onoogenda naffe, ebirungi byonna Mukama by'anaatukoleranga, tunaabigabaniranga wamu naawe.”
33Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. 34Bwe baatambulanga okuva mu lusiisira, ekire kya Mukama ne kibeera ku bo emisana.
35Essanduuko ey'Endagaano buli lwe yasitulwanga okutandika olugendo, Musa ng'agamba nti:
“Situka, ayi Mukama,
abalabe bo basaasaane,
n'abakukyawa, badduke bave w'oli.”#Laba ne Zab 68:1
36Era Essanduuko bwe yayimiriranga, ng'agamba nti:
“Komawo, ayi Mukama,
mu mitwalo n'emitwalo gy'Abayisirayeli.#10:36 Mu mitwalo…gy'Abayisirayeli: Oba “Komawo, ayi Mukama, Ggwe ali ng'eggye ery'obukadde n'obukadde ku lwa Yisirayeli.”

Currently Selected:

OKUBALA 10: LB03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in