Bible App logo
Search Icon

RUUSI 2

2
Ruusi akola mu nnimiro ya Bowaazi
1Nawomi yalina muganda wa bba, gwe bayita Bowaazi, omusajja ow'amaanyi era omugagga, ow'omu nnyumba ya Elimeleki.
2Lwali lumu, Ruusi n'agamba Nawomi nti: “Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nkuŋŋaanye ku birimba bya bbaale, abakunguzi bye balekamu, nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa.” Nawomi n'amugamba nti: “Genda mwana wange.”#Laba ne Leev 19:9-10; Ma 24:19
3Awo Ruusi n'agenda, n'atuuka mu nnimiro, n'alonda ebirimba bya bbaale, abakunguzi bye baalekamu. Awo n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi ow'omu nnyumba ya Elimeleki.
4Awo ne Bowaazi yennyini n'ava e Betilehemu, n'alamusa abakunguzi nti: “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti: “Mukama akuwe omukisa.”
5Bowaazi n'abuuza omuweereza we akulira abakunguzi nti: “Omuwala ono avudde wa?” 6Omuweereza n'addamu nti: “Ono ye muwala Omumowaabu, Nawomi gwe yakomawo naye ng'ava mu nsi y'e Mowaabu. 7Yansabye mmukkirize okukuŋŋaanya ebirimba bya bbaale, omwo abakunguzi mwe bamaze okusiba ebinywa. Awo n'ajja, era asiibye wano ng'akola okuva ku makya, era kati kyajje awummuleko katono mu kasiisira.”
8Awo Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Kati wulira mwana wange. Tolekangawo nnimiro eno, n'ogenda mu nnimiro ndala okulonda ebirimba, naye obeeranga wano, kumpi n'abaweereza bange abawala. 9Tunulanga olabe gye bakungula, obagobererenga. Nkuutidde basajja bange balemenga okukuziyiza. Era ennyonta bw'ekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku mazzi ge basenye.”
10Ruusi n'avuunama ng'obwenyi bwe butuukidde ddala ku ttaka, n'agamba Bowaazi nti: “Kivudde ku ki ggwe okunteekako omwoyo, n'okunkwatirwa ekisa, nze omugwira?” 11Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko. 12Mukama akusasule olw'ebyo bye wakola. Mukama Katonda wa Yisirayeli gwe weeyuna okukukuuma, akuwe empeera enzijuvu.”
13Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!”
14Awo obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Jjangu olye ku mmere, okoze ne mu nva.” Ruusi n'atuula wamu n'abakunguzi. Bowaazi n'amuweereza bbaale omusiike. Ruusi n'alya n'akkuta, era n'alemerwawo. 15Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana. 16Era mumutoolereko ne ku miganda, mugimulekere alonde.” 17Ruusi n'alonda ebirimba mu nnimiro okuzibya obudde. Bwe yabiwuula, n'afunamu bbaale ajjuza ekisero ekinene. 18N'akomawo mu kibuga, n'alaga nnyazaala we bbaale gw'akuŋŋaanyizza, n'amuwa n'emmere eyali esigaddewo ng'amaze okukkuta.
19Nnyazaala we n'amubuuza nti: “Olonze wa olwaleero? Okoze wa? Mukama awe omukisa oyo akutaddeko omwoyo.”
Awo Ruusi n'ategeeza nnyazaala we nti yali akoze mu nnimiro y'omusajja gwe bayita Bowaazi.
20Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.”#Laba ne Leev 25:25
21Ruusi Omumowaabu n'agamba nti: “N'ekirala, aŋŋambye nti nnondenga bbaale n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.”
22Nawomi n'agamba Ruusi nti: “Kirungi mwana wange, okolerenga wamu n'abawala abakola mu nnimiro ya Bowaazi oyo, olemenga okutawaanyizibwa mu nnimiro y'omuntu omulala.” 23Awo Ruusi n'akolanga n'abo okulonda, okutuusa amakungula ga bbaale n'ag'eŋŋaano lwe gaggwa. Era n'ayongera okubeeranga ne nnyazaala we.

Currently Selected:

RUUSI 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in