ABAROOMA Ennyanjula
Ennyanjula
Ebbaluwa Pawulo gye Yawandiikira Abarooma, Pawulo yagiwandiika ng'ategeka okukyalira ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'e Rooma. Entegeka ye yali ya kukolerako mu kibiina ekyo okumala akaseera, n'oluvannyuma ng'ab'eyo bamuyambyeko, alyoke agende mu Sipaniya. Yawandiika okulaga ye nga bw'ategeera okukkiriza kw'omugoberezi wa Kristo, era nga bwe kisaanidde okulabikira mu bulamu bw'Abakristo.
Mu bbaluwa eno, Pawulo mw'aweera obubaka bwe mu bujjuvu. Pawulo bw'amala okulamusa ab'omu kibiina ky'abakkiriza Kristo abali e Rooma, era n'okubategeeza nga bw'abasabira, ayatula ky'ayagala okwogerako mu bbaluwa ye nti: “Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obwa Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa buwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.’ ”
Olwo Pawulo agaziya ekigambo ekyo. Abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, beetaaga obutuukirivu obubatereeza babe bulungi ne Katonda, kubanga bonna bali mu buyinza bwa kibi. Abantu bafuuka batuukirivu, kwe kugamba baba bulungi ne Katonda, nga bayita mu kukkiriza Yesu Kristo.
Pawulo azzaako okunnyonnyola obulamu obuggya bwe tubaamu nga twegasse wamu ne Kristo, nga buva mu nkolagana eyo empya ne Katonda. Omuntu akkiriza, aba mirembe ne Katonda, Mwoyo wa Katonda n'amusumulula okuva mu buyinza bw'ekibi n'okufa.
Mu mitwe 5-8 Pawulo era akubaganya ebirowoozo ku kigendererwa ky'Amateeka ga Katonda mu bulamu bw'abakkiriza, era n'amaanyi ga Mwoyo wa Katonda kye gakola mu bakkiriza abo. Omutume Pawulo alwana n'ekibuuzo nti Abayudaaya n'ab'amawanga amalala bagya batya mu ntegeka ya Katonda gye yakolera abantu? Amaliriza ng'agamba nti eky'Abayudaaya okugaana okukkiriza Yesu, kiri mu ntegeka ya Katonda ey'okukwatirwa abantu bonna ekisa ng'ayita mu Yesu Kristo, era Pawulo akkiriza ng'Abayudaaya tebaligaana Yesu lubeerera.
Ku nkomerero Pawulo awandiika ng'alaga engeri obulamu obw'abakkiriza Kristo gye busaanidde okubeera, na ddala alaga ng'okwagalana kwe kuteekwa okufuga enkolagana yaffe ne bantu bannaffe. Ayogera ne ku bifa ku kuweereza Katonda, omugoberezi wa Kristo nga bw'asaana okuweereza eggwanga lye ne bantu banne, n'okugobereranga ekyo ky'amanyi nga kye kituufu mu mutima gwe. Afundikira ebbaluwa ye n'ebigambo eby'okutumira era n'eby'okutendereza Katonda.
Ebiri mu bbaluwa eno mu bufunze
Ennyanjula n'okulaga ky'agenda okwogerako 1:1-17
Omuntu yeetaaga Katonda okumulokola 1:18–3:20
Engeri Katonda gy'alokolamu 3:21–4:25
Obulamu obuggya mu Kristo 5:1–8:39
Omukristo nga bw'asaana okuyisa 12:1–15:13
Okufundikira n'okutumira 15:14–16:27
Currently Selected:
ABAROOMA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.