ABAROOMA 8
8
Obulamu bw'abo abalina Mwoyo Mutuukirivu
1Kale kaakano abo abali mu Kristo Yesu tebakyalina musango, 2kubanga etteeka lya Mwoyo, erituwa obulamu ffe abali mu Kristo, lyamponya etteeka erireeta ekibi era n'okufa. 3Amateeka kye gataasobola kukola olw'okulemesebwa obunafu bw'omubiri, Katonda yakikola. Yasalira ekibi ekiri mu mubiri omusango okukisinga, bwe yatuma Omwana we yennyini, ng'alina omubiri ogufaananira ddala omubiri ogukola ekibi, alyoke awangule ekibi. 4Ekyo Katonda yakikola, ffe abatafugibwa mubiri, wabula abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu tulyoke tutuukirize eby'obutuukirivu, Amateeka bye gatulagira okukola. 5Kubanga abo abafugibwa omubiri, beemalira ku bya mubiri, naye abo abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu, beemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu.
6Okwemalira ku by'omubiri kuleeta kufa, naye okwemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu kwe kuleeta obulamu n'emirembe. 7Okwemalira ku by'omubiri, kuleetera omuntu okuba omulabe wa Katonda, nga tawulira mateeka ga Katonda, era ddala tayinza kugawulira. 8Era abo abafugibwa omubiri, tebayinza kusanyusa Katonda.
9Naye mmwe oba nga ddala Mwoyo wa Katonda ali mu mmwe, temufugibwa mubiri, wabula mufugibwa mwoyo. Oyo atalina Mwoyo wa Kristo, si wa Kristo. 10Naye oba nga Kristo ali mu mmwe, emibiri gyammwe ne bwe gifa olw'ekibi, emyoyo gyammwe giba miramu olw'okutukuzibwa Katonda. 11Oba nga Mwoyo wa Katonda eyazuukiza Yesu, ali mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu, n'emibiri gyammwe egifa aligiwa obulamu ku bwa Mwoyo we ali mu mmwe.#Laba ne 1 Kor 3:16
12Kale nno abooluganda, tulina ebbanja. Naye omubiri si gwe gutubanja nti tugobererenga ebyo bye gwagala. 13Bwe munaagobereranga eby'omubiri, mugenda kufa. Naye Mwoyo bw'anaabayambanga ne mulekerayo ddala ebikolwa byammwe ebibi, muliba balamu. 14Bonna abaluŋŋamizibwa Mwoyo wa Katonda, be baana ba Katonda.
15Temwaweebwa mwoyo gwa buddu okudda mu kutya, naye mwaweebwa Mwoyo Mutuukirivu abafuula abaana ba Katonda, atusobozesa okuyita Katonda nti “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”.#Laba ne Mak 14:36; Bag 4:6#Laba ne Bag 4:5-7 16Mwoyo yennyini akakasiza wamu n'emyoyo gyaffe nti tuli baana ba Katonda. 17Nga bwe tuli abaana be, tulifuna ebyo bye yasuubiza abantu be, era tulifunira wamu ne Kristo ebyo Katonda bye yamuterekera. Bwe tubonaabonera awamu ne Kristo, era tuliweerwa wamu naye ekitiibwa.
Ekitiibwa kye tuliweebwa
18Ndaba ng'okubonaabona kwaffe okw'omu kiseera kino ekiriwo, tekuyinza kugeraageranyizibwa na kitiibwa ekiritulagibwa. 19Ebitonde byonna bitunula nkaliriza, nga birindirira okulagibwa kw'abaana ba Katonda. 20Ebitonde ebyo byafuuka ebitalina mugaso, si lwa kweyagalira, wabula ku bw'oyo eyayagala bibe bwe bityo. Naye waliwo essuubi#Laba ne Nta 3:17-19 21nti ebitonde byennyini biriggyibwa mu buddu obubireetera okuvunda, ne bifuna eddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda.
22Tumanyi ng'okutuusa kaakano, ebitonde byonna bisinda era byonna birumwa ng'omukazi alumwa okuzaala. 23Naye si bitonde byokka, wabula naffe abaafuna Mwoyo Mutuukirivu ng'ekirabo kya Katonda ekisookera ddala, tusinda mu mitima gyaffe, nga tulindirira Katonda okutufuula abaana be, n'okununula emibiri gyaffe.#Laba ne 2 Kor 5:2-4 24Twalokolebwa lwa kusuubira. Naye singa kye tusuubira tuba tukirabako, okwo tekwandibadde kusuubira. Ani asuubira ekyo ky'alabako? 25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tugumiikiriza ne tukirindirira.
26Ne Mwoyo bw'atyo atuyamba mu bunafu bwaffe, kubanga tetumanyi kusaba Katonda nga bwe kitugwanira. Naye Mwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka. 27Era Katonda akebera emitima gy'abantu, amanyi Mwoyo ky'alowooza, kubanga Mwoyo yeegayiririra abantu ba Katonda, nga Katonda bw'ayagala.
28Tumanyi nti abaagala Katonda era be yayita nga bwe yayagala, byonna ebibatuukako bibaviiramu ebirungi. 29Kubanga Katonda yamanya dda abantu be, nga tebannaba na kubaawo, era yabategeka bafaanane Omwana we, Omwana we oyo alyoke abe omubereberye mu booluganda abangi. 30Abo Katonda be yategeka, be bo be yayita. Era abo be yayita, be bo be yatukuza. Era abo be yatukuza, be bo be yawa ekitiibwa.
Okwagala kwa Katonda
31Kale ebyo tunaabyogerako ki? Katonda bw'abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa? 32Oyo ataasaasira na Mwana we yennyini, n'amuwaayo ku lwaffe fenna, alirema atya okutugabira byonna awamu naye? 33Ani aliroopa abalondemu ba Katonda, nga Katonda yennyini abaggyako omusango? 34Ani alibasalira omusango okubasinga? Kristo eyafa, era eyazuukira, oyo aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ye atuwolereza. 35Kale ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? 36Nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Olunaku lwonna tuli mu kabi
ka kuttibwa ku lulwo.
Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa.”#Laba ne Zab 44:22
37Naye mu ebyo byonna, tuwangulira ddala ku bw'oyo eyatwagala. 38Nkakasiza ddala nti newaakubadde bamalayika, wadde abafuzi n'ab'obuyinza abalala, newaakubadde ebiriwo, wadde ebigenda okubaawo, 39newaakubadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tebirisobola kutwawukanya na kwagala kwa Katonda, okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Currently Selected:
ABAROOMA 8: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: